TOP

Bbaasi ekutte omuliro 60 ne basimattuka okufa

By Paddy Bukenya

Added 11th February 2020

Bbaasi ekutte omuliro 60 ne basimattuka okufa

Pad1 703x422

Bus ng'ekutte omuliro

ABASAABAZE 60 basimattuse okufiira mu bus ye Rwanda ekutte omuliro ku lwe Masaka ebintu byabwe byonna ne bisaanawo.

Bbaasi ya kampuni ya Trinity Express ebadde ekubyeko abasaabaze ne maali yaabwe ng’eva e Rwanda nga eyolekera e kampala ekutte omuliro neyaka n'esaanawo abasaabaze ne basigala nga tebalina kintu kyona.

Bus eno namba RAD 644G okukwata omuliro kiddiridde okuyimirira ku Check Point e Buwama poliisi wewandiikira baasi eziyita ku luguudo luno  ku saawa nga 12 ez’okumakya kyokka dereeva olubadde okuvaamu n'ekwata omuliro olwo abasaabaze ne babuna emiwabo.

Okusinziira ku basaabaze ababadde mu bus eno bategeezezza nti basoose kulaba mukka nga gubuutikidde bus yonna ne batya ne bagiddukamu kyokka babadde bakavaamu ne bwatuka omulundi gumu n'ekwata omuliro ogw'amaanyi.

Poliisi ye Buwama ezikiriza omuliro egezezzaako okuzikiza bus eno ne lemererwa olw'omuliro ogw'amaanyi era n'etera n'efuuka muyonga n'ebintu by'abasaabaze byonna ne bisaanawo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....