TOP

Abatuuze bakubaganye n’abalokole lwa kkubo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2020

ABATUUZE n’abalokole mu kkanisa ya Bible Gospel Church Kampala bagwahhanye mu malaka wakati mu lukiiko olwayitiddwa poliisi okubatabaganya.

Katalina 703x422

Omuserikale (owookubiri ku kkono) ng’adduka okutaasa omugoberezi w’ekkanisa eyabadde agajambulwa.

ABATUUZE n’abalokole mu kkanisa ya Bible Gospel Church Kampala bagwahhanye mu malaka wakati mu lukiiko olwayitiddwa poliisi okubatabaganya.

Wakati mu kavuvuhhano kano, poliisi yawaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Abatuuze mu Nabukalu zzooni mu muluka gwa Bwaise II e Kawempe, balumiriza abatwala ekkanisa eno okubazibira ekkubo lye babadde bakozesa okutuuka mu maka gaabwe, okugenda ku luzzi ne mu ddwaaliro e Kawempe gye bafunira obujjanjabi.

Olukiiko lwabadde lukubirizibwa David Mwebaze omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijo mu Kampala n’emiriraano.

Abatuuze bagamba nti okuva mu 2015, ab’ekkanisa lwe baasenga mu kitundu kino, ekkubo lyazibwa.

Henry Kkungu ssentebe w’ekitundu ,yagambye nti bamaze ebbanga nga beegayirira ab’ekkanisa okubaggulirawo ekkubo ne beerema. “Tuzze tulwanagana n’abagoberezi b’ekkanisa ng’omulundi ogusembyeyo baatulumba ne batukolako effujjo ne batukuba kyokka ekikwasa ennaku, ate poliisi yasibamu batuuze.

Nze bankuba ne nfuna obukosefu ku mutwe, ne mbaggulako omusango ku poliisi y’e Kawempe ku fayiro SD:REF: 59/02/02/2020.”

Ate Twaha Kafeero omutuuze yagambye nti, “nze bansanga ntereeza oluguudo ne bankuba n’oluvannyuma ne banteekako ogw’okusaalimbira ewaabwe ku fayiro nnamba SD:REF:73/01/02/2020.

Bammenya engalo n’okutuusa leero nnyiga biwundu. Nange nabaggulako omusango ku SD:REF: 99/01/02/2020 e Kawempe naye sinnayambibwa.

Rhodah Nsagi muwala w’omugenzi James Ssebanakitta eyaguza ab’ekkanisa ettaka, yagambye nti jjajja we (omugenzi Mulindwa) yafa tasasudde ttaka kulimalayo.

“Twalisasula nga taata tannafa n’oluvannyuma ne tuliguza ekkanisa.” Kwe kusaba abatuuze okukwatagana n’ab’ekkanisa kuba mu kiseera kino ettaka be balirinako obuyinza.

Wakati mu kuteesa, abatuuze abamu we baatandikidde okukubagana n’abalokole ekyawalirizza poliisi okukozesa ku maanyi agenjawulo.

Grace Kiyaga omukadde w’ekkanisa abatuuze gye balumiriza okubazibira ekkubo yategeezezza nti, “guno omulundi gwakuna ng’abatuuze batulumba ne bamenya ggeeti n’olukomera.” Mwebaze yasabye abantu b’enjuyi zombi okubeera abakkakkamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu