TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Halima Nakaayi ne Winnie Nannyondo ekirwade kibalemesezza olugendo lwe China

Halima Nakaayi ne Winnie Nannyondo ekirwade kibalemesezza olugendo lwe China

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2020

Halima Nakaayi ne Winnie Nannyondo ekirwade kibalemesezza olugendo lwe China

Lim11 703x422

Emunyenye za Uganda mu misinde gy’ensi yonna Halima Nakaayi ne Winnie Nanyondo basazizzaamu olugendo olwe China okwetaba mu mpaka za World Indoors ezibadde ez'okuberaawo nga February 14 mu kibuga Nijing.

Okusazaamu olugendo luno kivudde ku kirwadde ekiri mu kutta bantu e China nga mu kiseera kino kitandise okusasaana amawanga amalala.

Nakaayi yakakasizza ensonga eno n’agamba nti ne kibiina ekifuga emisinde mu ggwanga, Uganda Athletics Federation nakyo nga bwe kyafunye okulabulwa kwe kirwadde kino era ne kisazaamu empaka zino okutuusa omwaka ogujja.

Nakaayi yawangulira Uganda omudaali ogwa zzaabu mu mita 800 mu mpaka z’ensi yonna, World Athletics Championships omwaka oguwedde era n’abeera Munnyauganda asookedde ddala okutuuka ku mutendera guno mu mita 800. Ate Winnie Nanyondo yamalira mu kifo kya kuna mu mpaka ze zimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....