TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. yeetaaga bbiriyoni endala 7 okulwanyisa enzige

Gavt. yeetaaga bbiriyoni endala 7 okulwanyisa enzige

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2020

GAVUMENTI etegeezezza nga bwe yeetaaga bbiriyoni endala musanvu okusobola okunnyikiza okulwanyisa enzige ezeeyongedde okusaasaanira ebitundu by’e Karamoja.

Nzige1 703x422

Omusajja ng’alaga enzige ezisaanyaawo ebimera.

Steven Tibeijuka, kaminsona avunaanyizibwa ku birime mu minisitule y’ebyobulimi yategeezezza nti bbiriyoni 15 ezaasoose okuteekebwawo bwamaze dda okukozesebwa ne buggwaawo.

Beeyambisizzaako bbiriyoni 11 okusasula ebbanja eribadde libanjibwa ekitebe ekyateekebwawo mu mawanga ga Afrika okulwanyisa enzige ekya ‘Desert Locust Control Committee’ era ab’ekitebe kino basuubirwa okuweereza Uganda ennyonyi esooka egenda okweyambisibwa mu kufuuyira enzige.

Ennyonyi eno esuubirwa okutuuka mu ggwanga akawungeezi k’Olwokubiri yeegatte ku bakugu abali mu ggwanga abaatandise edda okufuuyira.

Ensimbi endala zaakweyambisibwa okugula eddagala erifuuyira, okusasula omugoba w’ennyonyi egenda okweyambisibwa okufuuyira, okusomesa abagenda okuyamba ku bakugu n’okubangula abantu baabulijjo mu bitundu n’ebintu ebirala .

Tibeijuka yagambye nti mu kaweefube w’okulwanyisa enzige bajja kwetaaga ennyonyi ssatu okusobola okumalawo enzige zonna ezaalumbye eggwanga.

Wabula yasambazze ebibadde bitandise okwogerwa abantu abamu naddala bannabyabufuzi nti enzige teziri mu ggwanga n’akkatiriza nti zaayingira ku Ssande nga zaayingirira mu disitulikiti y’e Amudat nga ziva e Kenya.

Mu kiseera kino zimaze okusaasaana mu disitulikiti eziwera ttaano era ssinga tebazanguyira, disitulikiti ezisoba mu asatu zoolekedde okukosebwa okusinziira ku Tibeijuka.

Ekivuddeko enzige zino okusaasaana amangu kwe kuba nga zizze mu biseera bya kyeya era zitambula zinoonya kyakulya.

Okufuuyira enzige kwakutandikira mu distulikiti y’e Katakwi kulyoke kusaasaanire ebitundu ebirala.

Wabula abantu basabiddwa okwewala okulya enzige naddala ezinaaba zimaze okuttibwa kuba zijja kuba zifuuse zaabulabe.

Abantu 2000 be bagenda okutendekebwa okulwanyisa enzige nga kuliko abaserikale ba UPDF, abapoliisi n’abantu abalala.

Mu ngeri y’emu gavumenti yaweerezza baminisita babiri e Kenya bakole okwebuuza okw’enjawulo ku ngeri y’okulwanyisa enzige.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League