TOP

Omwami w'e Butambala atuuziddwa

By Dickson Kulumba

Added 12th February 2020

OMWOGEZI w’e Kibuli, Sheikh Nuhu Muzata Batte asabye Bannabyabufuzi mu ggwanga okuyigira kun kola ya Buganda ey’okukyusa abakulembeze mu buli kiseera ekigere era mu mirembe ekintu kyagamba nti kitumbula enkulakulana.

Tuuza 703x422

Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda olukulu, Paatrick Luwagga Mugumbule (ali mu kkanzu) ng'abuuza ku Sheikh Nuhu Muzaaata Batte ( ku ddyo). Wakati waaabwe ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu e Mmengo Joseph Kawuki. te ku kkono mu kyambalo ye Hajj Sulaiman Magala Katambala omwami w'essaza ly'e Butambala eyatuuziddwa nga Februaary 11,2020

“Enkola eno Buganda gyekolamu emirimu gyayo abantu tugikobe, obutabeera mu kintu n’okibeeramu nobeeranga afisizza abantu bonna era nti tebaliwo. Ono bwakwatamu nawumula nakwasa alina ebirowoozo ebiggya. Ebiwandikibwa byogera ku Kabaka yekka yamala okukisa omukono naye abakulembeze abasigadde balina okuwummula,” Sheikh Muzaata bweyategezezza.

Bino yabyogeredde ku mukolo gw’okutuuza omwami w’essaza ly’e Butambala, Hajj Sulaiman Magala Katambala n’abamyuka be Hajj Musa Lubega Manoti ne Samuel Ndugga ku mbuga y’essaza lino e Kabasanda ku Lwokubiri February 11,2020.

Sheikh Muzaata yayongeddeko “Enkyukakyusa mu bukulembeze zibeera nnungi n’ensi eva webadde nejjulukuka nedda ku ddaala eddala. Kino kirabikire ku munnange oyo bannyaffe ab’endiga bwebatuzaala, Hajj Twaha Lwanyaga Kibalizi eyawumudde mu mirembe era neesiga Hajj Magala okutwala obuwereeza buno mu maaso.”

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yakikiriddwa omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda olukulu, Patrick Luwagga Mugumbule ng’ono yeyakoze emikolo gyonna egy’ennono okuli okuyingiza Hajj Magala n’abamyuka be mu nju y’omwami w’essaza,okubakwasa effumu n’engabo,okubambaza ebyambalo  wamu n’okubakubisa ku ngoma y’essaza lino eyitibwa ssemayembe.

“Kolagana n’abantu mu kitundu kubanga Kabaka alina abantu aba buli ngeri era abamyuka bo buli kadde bakubeere ku lusegere n’obuvunanyizibwa obubawe,nabo bakwatemu mu buvunanyizibwa obutali bumu. Obuyinza n’obuvunanyizibwa mu buggye ku ssaza buke wansi ku maggombolola, emiruka n’ebyalo bwemunakola kino,obuwereeza bwa Kabaka bujja kutuuka wansi ku bantu ba bulijjo era babwenyumirizeemu,” Mugumbule bweyasibiridde Katambala entanda.

Bannabutambala babadde basanyufu n’obukulembeze obuggya era amataali gakubiddwa wamu n’okusaba okuva ew’omulabirizi wa Central Buganda, Bp Micheal Lubowa.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki yakubiriza obukulembeze obuggya okubeeranga obuyiiya wabula buleme kuyiyizanga mu bintu bya Kabaka wabula bakole ebyo byebasuubira okuleetawo enkyukakyuka mu kitundu kino.

Hajj Magala olwamaliriza okulayira wamu n’abamyuka be, yalangiridde olukiiko olukulembeze lwagenda okukola nalwo era nerulayira bwatyo n’asaba abantu be Butambala bulijjo okubeera obumu n’okukolera emirimu mu kuwabulagana.

Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’abavubuka e Mmengo Henry Ssekabembe Kiberu,Abaami b’amasaza, Kaggo eyawummula Tofiri Kivumbi Malokwezza,abaana enzaalwa mu kitundu kino okwabadde Polof Badru Kateregga nga yeyabadde ssentebe w’olukiiko olutegesi,Ababaka ba palamenti Mohamed Muwanga Kivumbi ne Lydia Mirembe n’abakungu abalala bangi okuva e Mmengo.

Okutuuza abaami b’amasaza abaggya kwatandika nga January 25,2020 n’okutuuza Kaggo Agnes Nakibirige Sempa, Ku lwomukaaga luno Ssekiboobo Elijah Boogere lwagenda okutuuzibwa ate Kkangaawo Ronald Mulondo wakutuuzibwa nga February 29,2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu