TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Eyaakayimbulwa e Luzira akomyewo n’akwatagana ne banne n’atandikira we yakoma

Eyaakayimbulwa e Luzira akomyewo n’akwatagana ne banne n’atandikira we yakoma

By Eria Luyimbazi

Added 12th February 2020

Mugabo eyakwatibwa poliisi mu August 2019 yatwalibwa mu kkooti ku misango gy'okusala abantu ensawo n’ababba

Omubbi 703x422

 Omuvubuka Hakim Mugabo nga asomola ensawo y'omutambuze

OMUVUBUKA Hakim Mugabo amanyiddwa nga Young Star abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera e Luzira akwataganye ne banne ne baddamu okusala ensawo.
 
Mugabo eyakwatibwa poliisi mu August 2019 yatwalibwa mu kkooti ku misango gy'okusala abantu ensawo n’ababba oluvannyuma lwa kkamera za Bukedde okumuk-wata lubona ng'asumulula ensawo wabula n’ayimbulwa mu January 2020.
 
Ku Lwokusatu kkamera za Buke-dde zazzeemu okukwata Mugabo ng'ali ne munne nga bagenda batambulira ku bantu abaweese ensawo ku migongo ne bazisumu-lula ne babaako bye batwala.
 
 
Mugabo ne munne obwedda batambulira ku luguudo lwa Burton Street okuliraana Pioneer Mall, Kampala Road ne Johnson Street ng’obwedda bagoberera abantu abaweese ensawo.
 
Kkamera za Bukedde zaalondod-de Mugabo ne munne okuva es-saawa 4:00 ez'oku makya okutuusa ssaawa 7:00 ez'omu ttuntu nga omu ku bo yabadde ayambadde ekkooti.
 
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti 
poliisi yatwala  Mugabo mu kkooti n’avunaanibwa era tebamanyi oba yayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Yagambye nti abaserikale bagenda kukola ebikwekweto okumuzuula n'okukwata banne nga ku mulundi guno bagenda kuttukizza fayiro enkadde asobole 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....