TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulambo gwa Maj. Biraaro gutwaliddwa mu makaage

Omulambo gwa Maj. Biraaro gutwaliddwa mu makaage

By Joseph Mutebi

Added 12th February 2020

Omulambo gwa Maj. Biraaro gutwaliddwa mu makaage

Kola 703x422

MUNNAMAGYE  Maj Gen. [Rtd] Benon Buta Biraaro, eyavuganyaako ku Bwapulezidenti bw’eggwanga afudde akyalina ekirowooza ky’okufuga ku ggwanga lino.

Maj Gen. Biraaro aludde ng’atawaanyizibwa ekirwadde kya kkansa w’ebyenda abakulira eddwaliro lya Kampala Hospital gye yafiiridde e ggulo mu ssaawa 12:30. Bategezzezza mu bbaluwa gye bafulumiza.

Nti Biraaro yatwalibwa mu ddwaaliro lino nga February,06,2020 ku ssaawa 12: 06 ez’emisana  ng’alumizibwa kkansa w’e kyenda era ne bamuwa obujanjabi okutuusa mukama lweyamujuludde eggulo  ku ssaawa 12:30 ez’amalya g’ekyemisana.

Amangu ddala nga Maj Gen Biraaro nga yaakafa, Bannamagye abakulembeddwaamu Lt. Gen Henry Tumukunde n'eyali minisita w’enguudo; John Nasasira, n'abamu ku  famire bagenze ku ddwaaliro lino ne batwala ambyulensi y’amagye okuva e Bombo ne baggyayo omulambo gwa Biraaro wakati mu bukuumi obw’ekitalo  okugenda okugukolako nga bwe balinda enteekateeka entongole.

Wabula mu maka ga Maj Gen. Biraaro e Munyonyo wasiibye wayiriiddwawo amagye ag'abaserikale nga tebakkiriza mummanawulire yenna kuyingira mu kikomera okutuusa nga gavumenti emalirizza enteekateeka y’okuziika n’efuluma mu butongole.

Ebikwata ku Biraaro

Yazaalibwa mu disitulikiti y’e Isingiro  nga March, 01,1958.

Yasomera Makerere University  gye yafunira diguli ye esooka mu ssomo  ly’eby’obufuzi.  Amangu ago ne yeegatta ku bayekeera ba NRC abaali bakulemberwa Museveni   nga 07th/ June/ 1982.

Abadde ne diguli ey’okubiri okuva mu “Cranfied University Of United Kingdom” e Bungereza mu “Global Strategic Studies.

Mu 1984 yafuulibwa omuwandiisi w’olukiiko olufuzi lwa High Command NRC.

Mu 1986 yafuulibwa omumyuka w’omuwandiisi wa Pulezidenti Museveni mu nsiiko. Olwo n'asindikibwa e Kitigum okutuuka 1987.

Oluvannyuma yasindikibwa e Kyankwazi ng’omumyuka w’akulira ettendekero lya NRC .

Eno gye yava n'atwalibwa okuduumira ekibinja ky'e 97th, mu Eastern Region. Gye yava okufuulibwa aduumira poliisi y’amagye.

Mu 1998 yasindikibwa mu DRC e Congo,  okuduumira eggye erizza emirembe n’okugoba abayeekera bakyewaggula Kony.  

alt=''

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu