TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusibe afiiridde mu kaduukulu ka Poliisi abooluganda ne batabuka

Omusibe afiiridde mu kaduukulu ka Poliisi abooluganda ne batabuka

By Ponsiano Nsimbi

Added 12th February 2020

OMUSAJJA eyakwatiddwa poliisi ku misango gy’okukuba mukaziwe afiiridde mu kaduukulu kaayo abooluganda n’abatuuze ne bagitabukira.

Thumbnailmus3 703x422

Henry Tumutungi 33, abadde omuvuzi wa boodabooda ku siteegi ya Kyengera Nabaziza mu Kyengera Town council ye yafiiridde mu kaddukulu ka poliisi ye Nabaziza ku Lwokusatu.

Deous Asiimwe mulirwana wa Tumutungi yategeezezza nti omugenzi yasoose kulwanagana ne mukaziwe Fabias Arinaitwe mu kiro nga yeyaleese abasirikale abatutte bba mu kaddukulu mwe yafiiridde.

Kigambibwa nti Tumutungi poliisi okumukwata yamusanze mu makage e Nabaziza ku ssaaw 11:00 ez’okumakya ne mutwala nti ku ssaawa 12:00 ez’okumakya bafumye amawulire nga poliisi ebategeeza nga bwe yabadde afiiridde mu kaduukulu.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirano, Luke Oweyesigyire yategeezezza nti omugenzi abadde n’obutakkaanya ne mukazi we nga babadde balina n’emisango emikadde ku poliisi eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu

Uhurukenyatta 220x290

Coronavirus: Kenyatta asaze omusolo...

Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta alangiridde nga bw’asaze emisolo mu kaweefube w’okuyamba Bannakenya mu mbeera...

1175942533jpg0 220x290

Coronavirus: Amerika ewadde bannansi...

AMERIKA ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu ddoola 1,200/-, ze ssente eza Uganda obukadde 4 n’ekitundu...