TOP

okuwasa kwamponya valentayini y'ekifere

By Martin Ndijjo

Added 13th February 2020

Omugagga David Katumwa agamba okuwasa kwamuyamba okuva ku laavu ya lejjalejja ne valentayini y'ekifere.

Katumwa20 703x422

Katumwa ng'awa mukyala we ekimuli

David Katumwa owa KatumwaSports Center y’omu ku beesunze olunaku luno era agamba azze akuza valentayini okuviira ddala mu myaka gya 1990.

Agamba okuva lwe yava ku laavu ya lejjalejja n’awasa mukyala we, Joan Muwanguzi olunaku luno lumutambulira bulungi era ne pulogulaamu y'enkya baamaze dda okugikola ateeseteese okumugulirayo ebirabo ate akawungezi bacakalemu

Bw’omubuuza kyasinga okujjukira ku lunaku luno asumululirawo emboozi y’omuwala eyamukyawa ku valentayini ya 1997 olw’obwavu ng’akyakola mu katale ka Owino.

‘‘Nakwana omuwala eyali atuguza caayi era olunaku olusooka lwe twali tutegese okusanyukira awamu lwali lw’abaagalana.

 atumwa ne oan Katumwa ne Joan.

Yali mubalagavu nga ne ffiga yeeyo. Okumanya nnali mwesunze naye ng’asuubizza okundaga omukwano namugamba asabe mukulu we gwe yali abeera naye amukkirize wiikendi tugimale ffembi anti valentayini yaliwo ku Lwakutaano.

Yantegeeza nga bwe baali bamukkirizza era twannyuka ffembi ne tugenda e Makerere Kivvulu gye nnali mpangisa akazigo.

Nagenda nneesunga kusula ‘mu ggulu’ kyokka kyanzigwaako bwe twatuuka ne nzigulawo omuwala bwe yalaba nga nsula wansi temuli wadde entebe ne yekyanga.

Yahhamba kimu nti “mbadde nneerabidde baaba yang’aanye okusula ebweru era yakoma ku mulyango naddayo’’.

Oluvannyuma yahhamba nti yali amanyi ndi bulungi era nninamu ku ssente olw’embeera n’ekifaananyi kye nnali ndaga ku mulimu kyokka kye yalaba awaka kyamukuba wala kubanga ye tayagala basajja baavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu