TOP

Eby’omwawule eyabadde abuze bikyuse

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2020

EBY’OMWAWULE eyabadde abuze byongedde okukyuka era abaffamire ye baagala poliisi esooke esazeemu byonna bye yasoose okubategeeza mu siteetimenti gye yakoze, nga bagamba nti baakizudde nti, yafuna ekizibu ku mutwe ku lunaku lwe yabula.

Nnyammwe 703x422

Ssaabalabirizi Ntagali ng’ali ne Rev. Mwesigwa e Soroti.

Rev. Isaac Mwesigwa 37, yazuuse ku Lwokusatu e Soroti era boodabooda ye yamututte ku kkanisa ya St. Stephens n’oluvannyuma ne bamutwala ku Lutikko ya St. Peter’s Church of Uganda Soroti awaabadde Ssaabalabirizi Stanley Ntagali eyamusabidde, oluvannyuma n’amukwasa poliisi eyamukomezzaawo e Kampala.

Kojja we, Stanley Ssempiira yategeezezza Bukedde nti Mwesigwa yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mengo okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw’okukizuula nti yabadde alina omusujja ogw’amaanyi ogwatuuse n’okumulinnya ku bwongo.

Yagambye nti baamukebedde nga ne puleesa ye eri waggulu nnyo ate nga ssukaali ali wansi era abasawo ne babategeeza nti omusujja ogwamulinnya ku bwongo gwe gwavuddeko obuzibu.

Yagasseeko nti bwe baamutuusizza awaka, obwedda buli lw’agezaako okwebaka ng’agugumuka agamba nti: Woowe abasajja bagenda kunkuba amasasi….” Nti era kino kyayongedde okubeeraliikiriza ng’aba ffamire.

Poliisi yabawadde n’abaserikale okuva ku poliisi e Nsambya nga bano be bakuuma awaka w’abazadde ba Deborah Mwesigwa ng’ono ye mukyala wa Rev. Mwesigwa.

Ssempiira yagambye nti abaserikale bano baabasindise okubeera ne Mwesigwa era bw’anaava mu ddwaaliro ng’assuuse, baakumutwala ku poliisi addeyo akole siteetimenti endala.

Ssempiira yawakanyizza ebigambibwa nti Mwesigwa yeewamba era n’ategeeza nti tawambibwa ngako ba mmundu. Kino kiddiridde Mwesigwa okukola siteetimenti ku kitebe kya poliisi e Naggulu, wabula ng’ekoonagana n’ebyo poliisi bye yabadde ekuh− haanyizza nga yeesigama ku kkamera zaayo.

Okwawukanako ne Mwesigwa kye yabadde agamba nti waliwo emmotoka eyasooka okumulondoola, oluvannyuma abasajja ab’emmundu ne bamulumba ne bamuteeka mu mmotoka endala, kkamera za poliisi ziraga mmotoka y’omwawule yokka era teziraga mmotoka ndala emulondoola, ate era kkamera teziraga basajja bammundu, wabula ziraga Mwesigwa ng’asimba emmotoka ku City Resort e Sseeta, n’akuba essimu era oluvannyuma boodabooda n’ejja n’agituulako ne bagenda.

Oluvannyuma kyazuuliddwa nga Mwesigwa yagendera ku boodabooda eyamutuusa e Sseeta ku luguudo olunene oludda e Jinja nti era we yalinnyira takisi eyamutwala. Abasajja abaakoonakoona emmotoka nabo tebaaliiyo era n’emmotoka teriiko kamogo!

POLIISI ENOONYEREZA KU BY’E SWEDEN

Kigambibwa nti Rev. Mwesigwa abadde ategeka kugenda Sweden mu buweereza obw’enjawulo ng’asumba Ekkanisa y’Abakrisitaayo Bannayuganda mu kibuga Stockholm n’emiriraano.

Poliisi enoonyereza ku bigambibwa nti mu kubulawo kwa Mwesigwa mwabaddemu omupango nga gwetooloolera ku pulaani ey’obutakomawo mu Uganda ng’ayagala asabe obubudamu ne ffamire ye babeerere ddala e Sweden.

Bateebereza nti okwanguyirwa okufuna obubudamu nti yabadde alina okuzimba embeera eraga nti alina abamulondoola mu Uganda (abaamuwamba) kimuyambe okulaga obwetaavu bw’okumuwa obubudamu e Sweden.

Gye buvuddeko, Omulabirizi wa Cetral Buganda Micheal Lubowa yategeezezza bannaddiini b’atwala nti Mwesigwa agenda kuba agenda e Sweden mu buweereza obw’ekiseera. Alina kusitula mu May w’omwaka guno.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti bye banaaba bazudde mu kunoonyereza kwabwe kwe bajja okusinziira okusalawo ku kye banazzaako ku nsonga za Mwesigwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....