TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obujulizi bw’essasi eryatta Akena bwongedde okuluma Kanyamunyu

Obujulizi bw’essasi eryatta Akena bwongedde okuluma Kanyamunyu

By Alice Namutebi

Added 15th February 2020

OMUKUGU mu by’emmundu alaze kkooti ekika ky’emmundu n’essasi eryakozesebwa okutta omugenzi Kenneth Akena bwe yabadde awa obujulizi ku Mathew Kanyamunyu agambibwa okukola ettemu lino.

Komawo 703x422

Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari nga bali mu kkooti.

Kanyamunyu avunaanibwa ne muganzi we Cynthia Munwangari okutta Akena. Oludda oluwaabi lwesigamye ku bujulizi obugamba nti baamukuba essasi mu lubuto eryamutta oluvannyuma lw’okukalabula mmotoka yaabwe mu bitundu by’e Lugogo. Ettemu lino lyaliwo nga Novermber 12, 2016.

Robin Kirinya okuva mu labalatole ya Gavumenti e Wandegya yabadde mujulizi wa 11 era yazze n’essasi eryalaalira mu mubiri gwa Akena n’aliraga omulamuzi Steven Mubiru ali mu mitambo gy’omusango guno.

Kirinya yagambye nti nga Novermber 18, 2016 poliisi yamuwa ebizibiti omwali essasi eriddugavu abikebere nga yeeyambisa obukugu bwa ssaayansi abannyonnyole ekika ky’emmundu ekyakozesebwa.

Ebirala ebyamuweebwa kuliko engoye; essuuti n’essaati y’emikono emiwanvu ebya bbulu ezigambibwa nti za Kanyamunyu, ekiteeteeyi kya Munwangari ne mmotoka nnamba UAW 548M abikebere oba nga biriko obuganga bw’essasi eryasangibwa mu Akena.

Oluvannyuma lw’okwebejja ebintu bino ebyamuweebwa poliisi, yakola lipooti nga May 31, 2017 eraga essasi eryakubwa Akena. Lipooti yalaze nti essasi lizitowa ggulaamu 2. 58, obuwanvu bwa centimeter 1.22 ng’essasi ery’ekika kino libeera mu basitoola [pistol] oba ekika kya basitoola ekirala ekimanyiddwa nga Revolver egendamu amasasi 8.

Yaggyeewo okubuusabuusa kwonna ku kika ky’emmundu ekyakozesebwa okutta Akena n’agamba nti yali basitoola.

Oludda oluwaabi lugamba nti oluvannyuma lwa Kanyamunyu okuba Akena essasi, emmundu yagikwasa muganda we Joseph Kanyamunyu eyagikweka era n’okutuusa kati poliisi tegifunanga.

Akena yafiira mu ddwaaliro lya Norvick oluvannyuma lw’okulongoosebwa essasi. Abehhanda za Akena baategeeza kkooti nti omugenzi yagenda okufa ng’amazze okulumiriza Kanyamunyu nti y’amusse yadde nga ye Kanyamunyu agamba nti yamutaasa butaasa n’amuddusa mu ddwaaliro oluvannyuma lw’abantu b’ataategeera okumukuba amasasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....