TOP
  • Home
  • Amawulire
  • MZEE ZEDDE: Yeewuunya bannaddiini abazannya Kkongojjo

MZEE ZEDDE: Yeewuunya bannaddiini abazannya Kkongojjo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2020

Mzee Zedde yeewuunya bannaddiini abazannya “Kkongojjo”……. Mu kuzannya Kkongojjo, okugulu okumu kusigala ku ttaka, okulala ne kugenda mu bbanga.

Mwe1703422 703x422

Rev Mwesigwa

Buba bunkenke bwennyini okwewala okwetandaggira ennume y’ekigwo ng’okugulu okuli ku ttaka kutendewaliddwa.

Obunkenke obwo obubeerawo mu kkongojjo, bannaddiini abamu mwe batambulira ne bateeka abagoberezi mu kaseera akazibu ak’okwawula ebituufu ku bulimba, mw’ebyo ababalyowa emyoyo bye boogera.

Rev. Mwesigwa bwe baamuwamba n’azuulwa nga by’ayogera bikoonagana n’ebya poliisi, Omukulisitaayo bamuleka mu mankatabbu gennyini ag’okwawula ayogera amazima kw’oyo ayogera eby’akasalo.

Okaluubirirwa okukkiriza ebya munnaddiini, ng’ebbali awo waliwo munnaddiiini omulala eyeegaana omwana, kyokka bwe baagenda ku musaayi (DNA) ne kizuulwa nga wuwe bwoya! Woo! Mzee Zedde alabye okubuusabuusa ebigambo by’abalyoyi b’emyoyo abali ku nsi mu kifaananyi kya Katonda ow’omu Ggulu.

Obwanjulukufu, obwesimbu n’obwesigwa bye babuulira ku katuuti, gwe munnyo gw’ensi, naye bwe gutandika okutuηηununa ne gufuuka olunnyonnyo; abagoberezi nga beekaabira.

Okujungulula omunnyo gw’ensi tekwanditukanze nnyo singa kuba kutandikidde ku bagoberezi, naye bwe kutandikira waggulu ku mutwe gw’ekyennyanja awatudde bannaddiini ab’amajoowoowe; ateeraliikirira awo y’abeera yeeraliikiriza.

Mzee Zedde alabye nnyo kubanga be bataddeko akazito kuliko bannaddiini abavubuka ab’emigigi emito n’abattuludde nga Rev. Kisitu n’ozingiramu n’abakadde ddala.

Obwerufu n’obwesimbu okunaabuuka tebuliiko myaka; tebusosola bawanvu ku bampi, banene ku batono.

Abagoberezi bwe batandika okwekengera bannaddiini baabwe ng’olwo endiga ze balyowa emyoyo zigenda kukyuka zitandike okusumba bannaddiini okubazza mu kkubo eggolokofu eririmu amazima agafuula abantu ab’eddembe.

Ebyawandiikibwa ebyetoloolera ku mwoyo, muleme kwetantala kubisikiza eby’omubiri ebiggwaawo mu kaseera mpa we kaaga! Munaalaba okwesongola mu maaso ga Mukama waffe, ng’ebiwundu by’obutali butuukirivu bibeetimbye mu maaso!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....