TOP

Omukugu akomeredde Kanyamunyu

By Alice Namutebi

Added 15th February 2020

OMUKUGU mu by’emmundu ayongedde okuwaayo Mathew Kanyamunyu avunaanibwa omusango gw’obutemu nti, esaati ye bwe yagikebera yaliko obuganga bw’amasasi.

Work 703x422

Munwangari ne Kanyamunyu

Robina Kirinya akolera mu kkeberero lya Gavumenti yategeezezza omulamuzi Steven Mubiru nti, essaati eno eya langi ya bbulu yaliko obuganga bw’amasasi okumpi n’ensawo.

Yagasseeko nti ne munda mu mmotoka ya Kanyamunyu nnamba UAW 548W ku ddaasi bboodi ku ludda lw’omusaabaze mu maaso bwe yakeberamu namwo yasangamu obuganga bw’amasasi.

Kanyamunyu avunaanibwa ne muganzi we Cynthia Munwangari okutta Kenneth Akena agambibwa nti baamukuba essasi oluvannyuma lw’okukalabula emmotoka yaabwe.

Oludda oluwaabi lugamba nti bwe baamala okumukuba essasi mu lubuto baamuddusa mu ddwaaliro okugezaako okukweka obujulizi era emmundu ne bagiwa Joseph Kanyamunyu eyagikweka n’okutuusa kati.

Kirinya y’abadde omujulizi ow’e 11 mu musango era yazze ne lipooti eraga nti essaati n’emmotoka byasangibwako obuganga bwa’amasasi naye balooya ba Kanyamunyu abaakulembeddwa MacDosman Kabega ne Caleb Alaka baalumye n’ogw’engulu okulaba nti, lipooti eno omulamuzi Steven Mubiru tagikkiriza kukozesebwa ng’obujulizi okusingisa Kanyamunyu omusango.

Baagikubyemu ebituli ne bamulaga nti, ebbaluwa za poliisi ezaasaba abakugu okukebera engoye n’emmotoka zaali bbiri emu ng’eriko amannya ga Kanyamunyu n’okunnyonnyola engeri gye yakozesaamu emmundu endala ng’ayogera ku bizibiti byokka tekuli mannya ga bavunaanibwa.

Baagambye nti omukugu bw’aba yafuna ebbaluwa zino zombi naddala okuli amannya ga Kanyamunyu n’ebikwata ku kutta Akena, kitegeeza nti poliisi yali emaze okumulaga oludda lwe baagaala yeekubire era lipooti ye erimu kyekubiira noolwekyo kkooti esaana egobwe.

Looya wa gavumenti Jonathan Muwaganya yagezezzaako okunnyonnyola kkooti nti, yadde ng’abaserikale baali bakoze ebbaluwa bbiri, ebbaluwa emu yokka okutali mannya ye yakozesebwa naye ne balemerako.

Omulamuzi yasazeewo oludda oluwaabi okuleeta owa poliisi eyawandiika ebbaluwa zino abeeko by’annyonnyola n’oyo eyazitwala ku kkeberero lya gavumenti n’omukugu Kirinya annyonnyole bbaluwa ki gye yasinziirako okukola lipooti olwo alyokke asalewo oba nga lipooti agenda kugikkiriza okukosebwa ng’obujulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....