TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakoze olukalala lwa Bamaseeka abalala abalina okuttibwa

Bakoze olukalala lwa Bamaseeka abalala abalina okuttibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2020

OLUKALALA lw’amannya ga bakulembeze abawera 13 olutimbiddwa mu bifo eby’enjawulo mu kibuga nga lulaalika okubatuusaako obulabe lusattizza abantu mu Kampala.

Crimesceneistock000020049073bradcalkins 703x422

Amannya agateekeddwaako ga bannabyabufuzi okuli aba NRM n’abooludda oluvuganya gavumenti.

Mu bali ku ludda oluvuganya gavumenti baataddeko ne Loodi meeya Erias Lukwago n’ababaka ba palamenti naddala abava mu Kampala ate aba NRM kuliko Egunyu Nantume, Barnabas Tinkasiimire ne Theodore Ssekikubo.

Ebipapula byagenze bitimbibwa mu bifo eby’enjawulo okuli Kampala Central , Kawempe, Nakawa, Lubaga , Makindye ne Kawempe.

Biraga nti beetagibwa okukolebwako obulabe kyokka tebiraga yabifulumizza. Omumyuka w’omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi yatandise dda okunonyereza ku baabifulumizza n’ebigendererwa byabwe.

“Tutandise okunonyereza ekigendererwa era poliisi egenda kusalawo oba abakulembeze abo tubawa obukuumi oba nedda” Owoyesigyire bwe yagambye.

Kino kiggidde mu kiseera nga waliwo ekiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga kirabula nti waliwo okutiisa okwakoleddwa abatujju okwagala okukola obulabe ku bantu abakolera mu bifo ebyolukale omuli akatale ka St. Balikuddembe, ppaaka za ttakisi n’ebifo ebisanyukirwamu.

Kyokka Owoyesigire yagambye nti ekyo kyabadde kiragiro kya baserikale munda ekitakwata ku bantu bonna.

Bannakampala bakedde kukuhhaanira ku bipande ebyasiddwa ku bizimbe nga buli omu bwe yeewunya abantu abaakikoze.

Buli omu yabadde ayogera kikye ng’abamu bajuliza nti abatemu abatta abantu gyebuvuddeko okwali ne Bamaseeka basooka kubalabula mu nkola y’emu ey’okubawandiikako ebipapula.

Omu ku basuubuzi mu Kikuubo James Mayambala yagambye nti poliisi tetwala okulabula kuno ng’okwabulijjo.

Eyambe okukuuma obulamu bw’ababaka ba palamenti bano kubanga be bazze bavaayo ne boogera ku mbeera y’okunyigiriza egenda mu maaso mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....