TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okugoba Kidandala kyongedde okutabula aba DP ne Mao

Okugoba Kidandala kyongedde okutabula aba DP ne Mao

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2020

Okugoba omuteesiteesi w’ekibina kya DP kwongedde okuyuza pulezidenti waakyo, Nobert Mao ne banne. Oludda lwa Kidandala lwogera ebikankana nti Mao by yakoze tebirina kye bigenda kuyamba okuggyako okumwanika olw’okulemwa okuddukanya obulungi ekibiina.

Talk 703x422

Mao ng’ayogerako eri bannamawulire. Kidandala eyagobeddwa.

Nga tebanaba kugoba Kidandala, abamuwagira okwabadde omwogezi w'ekibiina Kenneth Paul Kakande, munnamateeka w'ekibiina Samuel Muyizi , mmeeya w'e Makindye, Ali Kasirye Nganda Mulyanyama n’abalala baaweze nti olutalo terunnaggwa kubanga Kidandala akolera mu ssemateeka.

Mulyannyama yagambye nti bwe baagoba Betty Nambooze tebalina kye baafuna, kati ate tebasobola kugattako Kidandala akoledde ekibiina okuva lwe yava mu yunivaasite e Makerere.

MBIDDE AKYANYIGA BIWUNDU

Wadde bammemba ba DP abamu baataddewo olutalo mwe baakubidde n’omubaka Mukasa Mbidde ejjinja ku mutwe balemese pulezidenti Nobert Mao ne banne abamukkiririzamu okugoba omuteesiteesi Sulaiman Kidandala Sserwadda byonna byagudde butaka bamugobye.

Kidandala yatabuka ne Mao bwe yamuwakanya ku nteekateeka y’okulonda obukiiko ku byalo. Kidandala ne banne abaawakanya Mao bagamba nti ssemateeka eragira Kidandala ng’omuteesiteesi w’ekibiina okukulira okulonda kyokka Mao ne Siranda akola nga ssaabawandiisi beekomezza obuyinza.

Olukiiko lwabadde lulina kutandika ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ku Lwokutaano ku luguudo lwa Balintuma e Nakulabye, awali ofiisi za DP empya kyokka bammemba ne babagwamu.

Beekalakaasizza munda mu kitebe ne bakwata abawagizi ba Mao amataayi n’okubalangira okukolagana ne NRM basaanyeewo ekibiina.

Baavumye n’okulangira Mao, Fred Mukasa Mbidde ssaako ne Gerald Siranda olw’okudibaga ekibiina n’okukiriira munda bakisanyeewo. Poliisi yabaddewo n’ekkakkanya embeera. Omu ku baserikale agambibwa okuba owa Mbidde yaggyiddeyo abawagizi baasitoola abakubemu amasasi kyokka abaabaddewo ne bamukkakkanya.

Wakati mu lutalo Mbidde bamukubye ettofaali eryakutte endabirwamu y’eddirisa mwe yabadde yeekukumye obupapajjo ne bumusala ku mutwe kyokka n’alemerawo.

Poliisi yayitiddwa okuleeta obutebenkenvu era olukiiko ne lutandika. Yagambye nti bangi baakiwakanyizza kyokka ye Mao ne banne ne bakalambira nti Kidandala agobwe olw’okuwakanya ekiragiro kya pulezidenti ekiyimiriza okukozesa empapula ze yafulumizza mu kulonda obukiiko.

Abaabadde bawakanya Mao nabo baafulumye n’asigala n’abamuwagira okwabadde Mukasa Mbidde, Gerald Siranda , Dr. Mayambala Kiwanuka n’abantu abalala.

Mao yalemeddeko ne basalawo wakati mu kuwakanyizibwa nti Kidandala ayimirizibwe ku mirimu. Obuyinza bw’okuteekateeka okulonda baabukwasizza Shafiq Ddemba, omumyuka wa Kidandala.

MAO ALAALISE OKUKANGAVVULA ABASIIWUUKA EMPISA

Mao yagambye nti tasobola kukola na bantu batamuwuliriza. Kino yakiyise busiiwuufu bwa mpisa era n’alaalika okukangavvula abalala abasiiwuuka empisa mu kibiina.

“Kidandala abadde agenda atwogerera amafuukuule ate nga yajeemera n’ekibiina. Tugezezzaako okumuwabula n’agaana. Olukiiko lusazeewo okumuyimiriza era ateekeddwa okujja yeewozeeko” Mao bwe yagambye .

Yeekokkodde emize egifumbekede mu bannakibiina naddala obwakiwagi n’ebbulwa ly’empisa. Yeewanye nga bwali omukulembeze omugumiikiriza n’agamba nti mu bbanga lya myaka 10 ly’amaze mu ntebe, ayimirizza Betty Nambooze na Kidandala bokka.

MUKASA MBIDDE AYOGEDDE

Mbidde yagambye nti ababawakanya bakozesa butamanya kubanga ne Ben Kiwanuka eyanunula ekibiina yalina abaamuwakanya . “Tetugenda kuva ku kibiina kino okuggyako nga tukituusizza mu buyinza. Kidandala kyamugwanidde okuwummuzibwa. Agenda atya ku Nasser n’akubisa empapula ezize ezitaliiko ssiiru? Tugenda kweyongera okukolera ekibiina okutuusa nga kiteredde.

BIRIMU ENSONGA ZA PEOPLE POWER

Mao azze ayogera nti agenda kwesimbawo ku bwa pulezidenti bw’eggwanga mu kulonda kwa 2021 ekintu ekiwakanyizibwa abakulembeze ba DP abasinga nga bagamba nti talina buwagizi. Mu lutalo eggulo, obwedda bammemba b’ekibiina beekalakaasa nga bwe bavuma Mao nga bawaana Bobi Wine.

Aba Bobi Wine baabadde basibidde ku Sulaiman Kidandala abayambeko okutereeza olukalala lw’okulonda obukiiko n’okukola olukalala olutwalibwa mu ttabamiruka basobole okugoba Mao ku bwa pulezidenti. Mao agamba nti tasobola kukwata kibiina n’akitwala mu People Power era ye agenda kukikuuma okutuusa nga kiwangudde obuyinza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....