TOP

Omusajja yeetugidde ku buko!

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2020

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.

Writer 703x422

Kayitwebye eyeetuze. Ku ddyo ye Night

Jackson Kayitwebye ow’e Bugomora mu Kibugubya Kyabigambire mu disitulikiti y’e Hoima okugenda ewa nnyazaala we, Stella Nova yabadde akimye mukyala we Sarah Night. Bino byabaddewo ku ssaawa 2:00 ekiro era bwe baagaanyi okuwuliriza okusaba kwe, kwe kumalirira n’abakolako effujjo omwabadde okuboonoonera ebintu by’awaka n’agattako okubakuba emiggo.

Abatuuze baategeezezza nti Night abadde amaze emyezi mukaaga bukya anoba oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya mu maka gaabwe.

Owooluganda lwa Kayitwebye, Kenneth Kamwaka n yategeezezza Bukedde nti omugenzi ogwo ssi gwe gubadde omulundi gwe ogusoose okwagala okwetuga kuba nti emirundi mingi bazze bamusuuza omuguwa ng’agenda okwetuga.

Nova yategeezezza nti tamanyi kiki omuko ky’amutuuseeko kubanga bwe batakkiriziganyizza ku kusaba kwe, n’ayagala okuwangulamu oluggi lw’enju kyokka n’amala n’adduka kwe kumasanga enkeera nga yeetuze.

Poliisi omulambo yagututte mu ggwanika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...