TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2020

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Jit1 703x422

Abamu ku bavubuka abagambibwa okukulitamu okwekalakaasa abanoonyezebwa Poliisi

Bya Rosemary Nakaliri

POLIISI eri ku muyiggo gw’ekibinja ky’abavubuka bataano  abagambibwa okukuma omuliro mu bantu okwekalakasa e Kawempe.

Kigambibwa nti ekibinja ky’abavubuka bano kikulirwa  abantu okuli; Joseph Kasozi, Calvin Matovu  Tonny Lukyamuzi  Brian Wassajja ne Nambi Shamim  nga bano baasembayo okukwatibwa nga 17/06/2019 oluvannyuma lw'okukuma omuliro mu bantu okwekalakaasa nga bawakanya omusolo gw’amayumba mu lukiiko olwatuuzibwa ku Ggombolola ye Kawempe olwaggwera mu masasi ne ttiyaggaasi okusobola okubagumbulula .

 Oluvannyuma lw’okwekalakaasa okwo  baakwatibwa ne batwalibwa ku poliisi ye Kawempe ne wankubade ng'enkera nga 18 /06/2019  baayimbulwa ku kakalu ka poliisi  ne balagirwa okudangayo beyanjule ku poliisi eyo kyebataakola .

Oluvanyuma lw'okulemwa  okweyanjula nga bwebaali balagiddwa, kati banoonyezebwa  poliisi bannyonnyole ku misango gye bateberezebwa okuzza .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano  Patrick Onyango ategeezezza nti bazze nga bakwata  abavubuka bano naye nga tewaba  kibonerezo  kya maanyi kibaweebwa   wabula nga ku mulundi guno poliisi egenda kukola ekisoboka kyonna nga bakozesa enkola ya tekinologiya ow'okubalondoola (tracking) okusobola okubafuna batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe bavunaanibwe.

Ayongeddeko nti abantu bano buli lwe bekalakaasa bakyankalanya entamuza y'emirimu  ssaako eby’entambula, okwonoona ebintu by’abasuubuzi n’ebirala bingi  ky’agamba nti kino baakukola ekisoboka kyonna okukirwanyisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....