TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwawule akoze siteetimenti ekontana n’ebya poliisi

Omwawule akoze siteetimenti ekontana n’ebya poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2020

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola siteetimenti ng’annyonnyola ku ngeri abantu b’ayogerako ng’abaabadde n’emmundu gye baamuwambye n’engeri gye yeesanze ng’ali Soroti ku Kkanisa awaabadde Ssaabalabirizi Stanley Ntagali.

Carol 703x422

Mwesigwa ng’annyonnyola ebyamutuuseeko.

Omwawule Mwesigwa nga tannazuulwa, abeebyokwerinda baasoose kuzuula mmotoka ye Toyota Raum UAR 468D eyalekebwa ku kifo ekisanyukirwamu ekya City Resort e Sseeta – Mukono ku luguudo oludda e Bukeerere.

Ebyambalo by’obwawule n’essimu ez’omu ngalo omwawule z’akozesa, zaasangiddwa mu mmotoka. Emmotoka yazuuliddwa ku Lwakubiri ate omwawule n’azuuka enkeera ku Lwokusatu.

Rev. Mwesigwa ayogedde Yannyonnyodde engeri b’alumiriza okumuwamba gye baamutambuza okuva e Mukono okutuuka e Soroti gye yasuuliddwa.

Agamba nti eyo gye yasangidde owa boodabooda gwe yasabye okumutwala ku kkanisa eri okumpi nga yamutuusirizza ku St. Stephen’s Church of Uganda Soroti, abaamuwadde okubudaabuda okusooka era n’anaaba n’okulya, oluvannyuma ne bamwongerayo ku Lutikko ya St Peter’s Soroti awaabadde Ssaabalairizi.

EBIRI MU SITEETIMENTI Y’OMWAWULE

Mu siteetimenti Rev. Deacon Isaac Mwesigwa 37, gye yakoledde ku kitebe kya poliisi e Naggulu akawungeezi k’Olwokusatu yattottodde bw’ati ku byamutuukako: Ku Ssande nga February 9, 2020 nnasimbula ku kkanisa ya St. Johns e Kasaka - Gomba mu Bulabirizi bwa Central Buganda gye mpeerereza nga ndi ne mukyala wange Deborah Mwesigwa.

Twaasokera ku ssomero lya Christ Care e Masajja okukyalira omwana waffe era ne tubaako ebirabo bye twamulekera, oluvannyuma ne tweyongerayo e Kyebando, mu Kampala. Eno gye nnalina okuleka mukyala wange nze nneeyongereyo e Misindye ewa kojja 

Twasooka kulya kyaggulo e Kyebando era ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro ne nsibula. Nnakozesa oluguudo lwa Northern Bypass ne mpita e Naalya - Namugongo okutuuka e Ssonde.

Nga ntuuse e Ssonde, nagenda okulaba nga waliwo emmotoka envaako emabega ne njekengera olwa sipiidi gye yaliko ne nsalawo okusimba ebbali era emmotoka eyo n’empitako.

Nnasalawo okudda ku kkubo neeyongereyo wabula nnekanga okulaba ng’emmotoka eyampiseeko ku sipiidi ey’amaanyi, ate esimbye mu maaso gange era ekyaddirira kwe kulaba abasajja basatu nga bafulumamu. Ababiri baali bakutte emmundu nga bajja gyendi.

Nnakubira kkojja wange (Stanley Ssempiira) ne mutegeeza nti waliwo abasajja b’emmundu abansazeeko.

Kyokka kojja yali tannaba kubaako kyanziramu abasajja ne batandika okukoona mmotoka yange, nange olw’okutya okungi kwe kubagamba nti temukoona mmotoka kanziggulewo mu mirembe.

Bwe nnaggulawo abasajja ne balingiza mu mmotoka yange oluvannyuma ne bahhamba nti ogisimbye ku kkubo ddako ebbali.

Nnakola kye bahhambye olwo ne nfuluma mu mmotoka naye bwe nnafuluma nagenda okulaba ng’omusajja omu ansonzeemu emmundu ekyayongera okuntiisa.

Olwo essaawa zaali zikunukkiriza mu 4:00 ez’ekiro era amaloboozi gaatandika okuyitihhana nga baagala okunzitira e Ssonde wennyini naye omu ku basajja bano n’agamba munne nti basooke kuntwala wa mukama waabwe yajja okusalawo eky’okukola.

Ekyaddako basajja kunteeka mu mmotoka yaabwe ne banvuga era bwe nnagezaako okukuba enduulu ne bansiba akagoye ku mimwa ne mu maaso ne siddamu kutegeera gye bantwala.

Baatandika okunyumya mu lulimi Oluswayiri n’Oluzungu nga nze nsigalidde kusaba Katonda ayambe.

Banvuga akatemerero okutuusa lwe bantuusa mu kifo ekirimu enzikiza ennyingi nga wano we nnabeera okutuusa obudde okukya.

Wano nnasangawo mukama waabwe gwe baayogerangako nga ‘Chief.’ Baali bakantuusa ‘Chief’ n’abagamba nga bwe baleese omuntu omukyamu, nti ye yabadde ayagala mulala.

Ekyaddako yambuuza nnamba ya mmotoka yange era bwe nnatandika okusoma nti UAR n’ahhamba nti, “Koma awo”, era n’akyukira bali n’abagamba nti, “Muleese mukyamu, gwe nnabatumye avuga UAP.”

Mu kiseera kino enjala yali empitiriddeko kuba nnali nnakomye kulya ku Ssande okuggyako amazzi ne chapati bye bangulira ku mutwalo ogwali mu waleti yange.

Ne chapati nnalyako katono olw’ensonga nti nnalina ensisi ey’amaanyi ate nga nnina n’ebirowoozo eri ffamire yange.

Ku Lwokubiri baakera kuntegeeza nga bwe bagenda okukubira abantu bange ku Lwokuna babasabe obukadde 20 oba ssikyo bababuulire omulambo gwange webagutadde.

Kino kyayongera okuntyemula omutima era ne mbategeeza nti olaba neza yunivasite sinnazifuna ate ezo obukadde 20 banaazigyawa?” Ku Lwokusatu ku makya waliwo eyazze mu kasenge gye baali bantadde n’ambuuza nti “Okyayagala okubeera omulamu?” Ne mmugamba nti ye era kwe kundagira nfulume nga nziruka wabula nga nnina akagoye ku maaso.

Nadduse kiwalazzima nga waliwo omu ku basajja anvaako emabega era olw’okuba nnali siraba nga bantaddeko akagoye ku maaso nagwa ewantu era omusajja n’angamba nti “Go in peace”. Nnafuba okweggyako akagoye ku maaso era ne nnyimiriza owa boodabooda ne musaba antwaleko ku kkanisa eri okumpi.

Olwo amaaso gaabadde gambalagala nga gavaamu n’amaziga. Owa boodabooda yantutte butereevu ku kkanisa ku ssaawa 2:00 gye nnasanze nga bali mu kusaba.

Nnasisinkanye amyuka viika wa Lutikko eno gwe nanyumirizza byonna ebyantuseeko era naye kwe kusalawo okukubira Ssaabalabirizi Ntagali eyansisinkanye n’antwala ku poliisi ne nkola siteetimenti oluvannyuma ne banvuga okuntwala e Naggulu gye nnatuuse ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi.

SITEETIMENTI Y’OMWAW ULE EKOONAGA NYE N’EBYA POLIISI

Poliisi ekyatabuddwa kubanga omwawule bye yatadde mu siteetimenti ye, bingi ku byo bikoonagana n’ebyo poliisi bye yasoose okukuhhaanya naddala nga yeesigama ku kkamera zaayo.

Okugeza, kkamera za poliisi ziraga emmotoka ya Mwesigwa ng’etuuse e Naalya ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi, ate nga mu siteetimenti agamba nti yavudde e Kyebando nga ziri mu ssaawa 2:00 ez’ekiro.

Ekirala Mwesigwa agamba nti, waliwo mmotoka eyamwekiika n’evaamu abasajja babiri ab’emmundu abaamuwamba kyokka poliisi akatambi ka kkamera ya poliisi, tekalaga mmotoka Mwesigwa gy’ayogerako.

Agamba nti, abasajja ab’emmundu abaava mu mmotoka eyamwekiika, baakonkona mmotoka ye ne bamulagira aggulewo kyokka abasajja baayogerako kkamera teri we yabakwatira, kkamera eraga Mwesigwa ng’ava mu mmotoka nga tewali amukase n’ayogera ku ssimu.

Mwesigwa mu siteetimenti ye, agamba nti baamuwambira Ssonde okumpi ne City Executive Hotel ne bamuteeka mu mmotoka endala wabula kkamera ziraga Mwesigwa ng’alinnya boodabooda eyamuvuga ng’emuzza ku ludda lw’e Sseeta.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yagambye nti, Mwesigwa bwe yawambibwa, baateekawo ttiimu y’abakugu okuva mu bitongole bya poliisi bina okuli Crime Intelligence (CI), Counter Terrorism (CT), CID ne Forensics (abakuhhaanya ebizibiti n’okwekeneenya obujulizi bwonna) okunoonyereza ku bantu abagambibwa okumuwamba.

Yagasseeko nti, Mwesigwa baamuggyeeko siteetimenti era ttiimu eno, eri mu kwe keneenya obujulizi bwe bakuhhaanyizza nga bwe babugeraageranya ne siteetimenti gye yakoze okusobola okutuuka ku kituufu ekyabaddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....