TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okutulugunya abakyala kweyongede -Abakugu boogede kwe kiva

Okutulugunya abakyala kweyongede -Abakugu boogede kwe kiva

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2020

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma lwemuaka ebiiri yazala abalongo olwo ye ne ba ne baweza abaana basatu ear nga obufumbo bwabwe bwali butambula bulungi.

Bya Stella Naigino

Nakilanda yasalawo ne bb anti balina okukola ennyo okuva mukupangisa awokusula era nga omwami yali muzimbi natandiika okumuteresa ensiimbi.

Zino bwezawera, bagula kapuloti, era nebakanya nti bajja kukazimba mu enyumba mwebanakuliza abaana.

Bano tebakomawo, beyongera okukola era nebagula kapoliti akalala nga wano bba wa Nakilanda yatandiika okukyuka era natandiika okugoba Nakilanda nga okulagila amuvire adeyo ewabwe.

Oluvanyuma lwa Nakilanda okugana, omwami we yamuyiira asiidi era nga nekakati Nakilanda apocha nabiwundu.

Oluvanyuma lwokunonyereza enyo, omusajja yakwatibwa polisi naye teyalwa mukadukulu. Kino kyakosa Nakilanda era nga yali atandiise okuwunya.

Kati ayambibwako aba action Aid uganda nga bano badamu nebakwata bba era nga kati bali mukoti bawoza era nga Nakilanda na baana be bakumibwa aba action Aid.

Alice Okory ye mukyala omulala eyakyawa abassajja lwa kumutulugunya.

Ono agamba nti alina abaana babiri mubasajja abenjawulo naye nga ekyamutabula nga kyali kya bassajja kumukuba.

kino kyamutamya abasajja era nga kati abera ne maama we e Bwaise.

Abakugu bannyonnyode okutulugunya kwenkiva

Alice Iwelo nga ono abudabuda bakyala batulugunyizibwa agamba nti abakyala obutakola kibaletedde okubera nga bebasinga okutulugunyizibwa ensanji zino.

agamba nti kino kye kisera abakyala bave mu byokwekubagiza batekewo ebintu byebasobola okukola bajjemu ensimbi ezisobola okubabezawo nabaana babwe.

kino kikuyamba ko okutatunulira nnyo musajja.

Okubaliga mubafumbo

Florence Akol nga naye mukugu mukuwabula abafumbo agamba nti esanji zino abafumbo bayitiriza okukola obwenzi nga kino kitabudde nyo amaaka.

agamba nti kyekisera abafumbo babere bamativu nabagalwa babwe bebalina olwl bakomye obwenzi.

Obutakkaanya

Akol agamba nti abafumbo enaku zino tebakanya nga buli omu akola nga bwaba ayagade nga kino kibaletera okutabuka.



More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...