TOP

Agambibwa okubba kasooli bamukubye amasasi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2020

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi agamuttiddewo ng’adduka.

Kola 703x422

Abatuuze nga beetegereza omulambo gwa Twesigye eyattiddwa.

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi agamuttiddewo ng’adduka.

Amos Twesigye, omutuuze ku kyalo Ssanga mu ggombolola y’e Gombe mu disitulikti y’e Wakiso ye yasangiddwa mu nnimiro ya Micheal Sewanyana. Kigambibwa nti baamusanze amaze okumunoga ng’amuteeka mu bukutiya ng’ayambibwako banne basatu wabula bo baasimattuse.

Sewanyana yagambye nti babadde ne munne nga bakuuma kasooli waabwe kwe kuwulira abantu abanuula kasooli ne baddukira ku poliisi. Yagambye nti baabadde banaatera okutuuka ku poliisi kwe kusanga aba LDU ne babannyonnyola embeera eyabaddewo bwe batyo ne 

bagenda okukwata ababbi. Ababbi bwe baawulidde abaserikale ne badduka kwe kubawereekereza amasasi agaakutteko omu.

Abatuuze basanyukidde ekyakoleddwa abaserikale ne bagamba nti obubbi bwafuuka luyimba ng’ate abasinga okubatigomya baana ba ku kyalo.

Maama wa Twesigye, Peace Rwamuccungulu ne mukyala we, Sharon Kobusingye bazze okulaba omuntu waabwe attiddwa kyokka baagambye nti nabo babadde tebamanyi nti Twesigye y’omu ku babadde batigomya ekyalo.

Ssentebe w’ekyalo kino, Don Katende yagambye nti babadde baakamugoba ku kyalo ng’atigomya abatuuze wabula mukama we, n’amwegayirira abeere ku kyalo kyokka n’amulabula okukomya obubbi.

Akulira enkambi y’amagye e Kawempe, LT. Col. Mohammad Ondoga yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’ekikwekweto eky’okunoonya buli eyeenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Yasabye abatuuze okukola basobole okwebeezaawo n’asaba abazadde okubuulirira abaana baabwe okwewala ebyatuuse ku Twesigye.

Poliisi y’e Matugga yazze n’etwala omulambo mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...