TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita w'ebyemizannyo omuggya Hanson Denis Obua asiimye omulimu ogukoleddwa Omugagga Ham ogw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo

Minisita w'ebyemizannyo omuggya Hanson Denis Obua asiimye omulimu ogukoleddwa Omugagga Ham ogw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo

By Joseph Mutebi

Added 18th February 2020

Minisita w'ebyemizannyo omuggya Hanson Denis Obua asiimye omulimu ogukoleddwa Omugagga Ham ogw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo

Han1 703x422

Omugagga Ham ku ddyo ng'ayaniriza minisita

MINISITA  w’e by’emizannyo omuggya Hanson Denis Obua asiimye omulimu ogukolebwa ogw'okuzimba ekisaawe kya “Nakivubo War Memorial Stadium” n’agamba nti y’omu ku babadde babuusabuusa nti ekisaawe tekiyinza kuddawo naye ku ky'alabye asanyuse nnyo okulaba  engeri omulimu gye gutambulamu.

“Okwogera ennyo ebiseera ebisinga tekulina makulu ng'ekintu ky'oyogerako tomanyi bwekitambula, era nkimanyi nti Bannayuganda bangi balowooza nti tewali mulimu gugenda mu maaso mu kuzimba ekisaawe kya Nakivubo wabula nange bwentuusewo nkakasizza nti kituufu ekisaawe weekiri era omulimu gutambulira ddala” bwatyo Minisita Obua bwategeezezza.

Obua okwogera bino abadde agenze okulambula omulimu ogutambula mu kuzimba ekisaawe kya Nakivubo wegutuuse kubanga bannabyamizannyo babadde basiiba mu offisi ye nga bamugamba nti agende ataase ekisaawe kyabwe kubanga omugagga Ham yakizimbamu amaduuka.

Obua asabye aba ‘ROKO Construction’ abaakwasibwa omulimu gw'okuzimba ekisaawe nti ekisaawe kino  bakkirize abantu ba bulijjo babafunire ennaku baggulewo emiryango bajje balabe omulimu engeri gye gutambulamu ne wegutuuse kibayambe okuggyawo engambo ezibungeesebwa mbu ekisaawe omugagga yakizimbamu amaduuka.

Bwotunuulira pulaani y'ekisaawe kino n'engeri gyekiri mu kuzimbibwamu  ofuna essuubi nti bwekinaaba kiwedde kigenda kutumbula emizannyo emirala mingi omuli, Cricket, Tenis, Netball n'emirala mingi.

Minisita alambudde omulimu guno ng'ali wamu n'omuwabuzi wa Pulezidenti ku by'emizannyo okuva mu ggwanga lya German ng'ono ategeezezza nti ekisaawe bwekinaaba kiwedde kigenda kusitula nnyo omutindo gw'ebyemizannyo mu ggwanga.

Ekisaawe kino bwekinaaba kiwedde kigenda kutuuza abantu 35000, Parking ennene obulungi ,gym, , sauna,Swimming pool, Resturant , ebisenge omutesezebwa ne kalonda omulala

Minisita Obua asabye bannayuganda bongere okuwa Ham amagezi ku biki bye bandiyagadde mu kuzimba ekisaawe kino mu kifo ky’okulwanyisa enkulaakulana.

Akulira okuzimba ekisaawe kino okuva mu kampuni ya ROKO, Asaba Aine agambye nti omulimu gw’okuzimba ekisaawe kino wegutuuse ebitundu 70 ku 100 guwedde kubanga obuzibu bubadde businga kubeera mu kuzimba musingi omugumu ogusobola okutuulako ekisaawe kino engeri gye kiri mu lutobaazi.

“Ketumaze okuzimba omusingi omugumu , n’ekifo ky’abakungu ebisigadde kugenda kuyisa mukka mu kiseero  era kati mu mwaka gumu n’ekitundu kigenda kubeera kigyiddwako engalo” Bwatyo Asaba bweyategeezezza.

Agambye nti  baamaze dda okukwatagana ne kampuni ya German egenda okubakolera ekiwempe ekya  wansi eky’omulembe  ekituukagaana n’omulembe gw’e bisaawe by’e bulaaya bannayuganda bannyumirwe

Omugagga Ham agambye nti ku myaka emitono gy'alina yandibadde assa nnyo essira mu kukulaakulanuya Comnpany ye eya Ham enterprises naye yasalwo ebyo okubissa ku bbali akole ekintu ekiyamba Bannayuganda bona okutwaliza awamu.

Ffe nga bannayuganda ffe tulina okwekulaakulanya tuze mu kulowooleza mu bazungu okutukulaakulanya kati nze munnayuganda munnamwe alinga nze ng'akoze ekintu ekitwala eggwanga lyaffe mu maaso tuleme kubalimirira nakuboogerera mafuukuule wabula kyebalina okkola kubeegattako bawagire enkulaakulanya"

Nkutte obukadde bwa Dollar 49 ne mbuteeka mu kuzimba ekisaawe kati lwaki omunt nga nze munnayuganda munnange abeera annwanyisa" Ham bwatyo bwategeezezza

Ham ayogedde ku nsonga lwaki omulimu gw'okuzimnba ekisaawe gutambudde mpola n'ategeeza nti omwaka oguwedde enkuba yali nnyingi nnyo era ne kiviirako okukola empola engeri ekisaawe gye kizimbirwa mu lutobazi. Naye mbakakkasa nti mu kiseera kitono buli kimu kigenda kuba kiwedde'Bwatyo Ham bwategeezezza     

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....