TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mayinja ayogedde ku by'okufuna ssente alwanyise Bobi Wine: 'Ababyogera bannyonoonera linnya'

Mayinja ayogedde ku by'okufuna ssente alwanyise Bobi Wine: 'Ababyogera bannyonoonera linnya'

By Musasi wa Bukedde

Added 19th February 2020

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza nti ekibatabudde kiri kimu – kuwuliriza lugambo.

Funa 703x422

Mayinja yeewozezzaako nti, bamukonjera.

Yannyonnyodde nti ebintu ebyatandika ng’eby’olusaago ku mikutu gya Social Media yeewuunya okulaba nga bakamaabe mu People Power batandise okubikkiririzaamu.

Yagambye nti ekizibu ekirala kye yafuna kwe kugezaako okutuukirira Bobi Wine wabula kaweefube oyo gwe yatandika mu January 2020 nti abadde tannavaamu bibala.

Yagambye nti yasooka kukuba masimu ga Bobi Wine naye nga tegayitamu, n’akubira omwogezi wa People Power Joel Ssenyonyi kyokka n’amutegeeza nti bakyalina bye bakolako bwe banaaba babimalirizza bajja kumufunira olunaku bamusisinkane naye nti okuva mu January tebamuwanga lunaku.

Yeewuunyizza okuba nga tebakyamuyita na mu nkiiko.

Yagambye nti akyali wa nkyukakyuka era tasalanga ddiiro nga bwe babyogera, n’agattako nti aboogera nti yaweebwa emmotoka n’ensimbi okutabula People Power bamwonoonera linnya n’okumukyayisa mu bantu batandike okumulaba ng’atalina mugongo era atali mwesimbu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...