TOP

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

By Musasi wa Bukedde

Added 19th February 2020

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Top33 703x422

PULEZIDENTI wa FMU, Dipu Ruparelia akakasizza nti empaka ezitegekeddwa okuggulawo calendar ya FMU mu digi zakubaawo ku Ssande (February 23) nga bwe bagenda mu maaso n’okutabagana n’akawayi akeewaggudde okutondawo ekibiina ekipya ekya Motorcross Association of Uganda (MAU).

Abadde n’abamu ku bakungu ba FMU abaalondeddwa omwezi oguwedde abaakunkumudde Dusman Okee omukono mu kibya.

Dipu agambye nti okulabula kwe yabadde awadde wiiki ewedde nti bonna abeetabye mu mpaka ezaabadde e Busiika tebajja kuddamu kukkirizibwa kwetaba mu zitegekebwa ekibiina kya FMU abimenyewo basooke bateeseganye.

Enteseganya za February 25.

Empaka zino z’ezoluvuga olusoola olwa FMU era omu ku bakulidde okuzitegeka, George Semakula ategeezezza nti balina abavuzi abamala abagenda okuteekawo okuvuganya okumala kyokka nti n’abamu ku baavugidde mu kabiina kaabakyewaggula batandise okusaba okuzeetabamu.

Kino kiddiridde okutegeeza nti omuvuzi yenna aneepena ezitegekeddwa FMU tajja kukkirizibwa kwetaba mu mpaka za ttiimu ya ggwanga.

Semakula ategeezezza nti bagenda kuvuga n’emmotoka z’empaka ng’abavuzi kinoomu beevuganya mu z’akafubutuko nga n’abamu bagenda kwerigira mu bumotoka obubikkule obumanyiddwa nga ‘Buggy’.

Okwewandiisa kusuubirwa eri abavuzi kujja kubeera ku mulyango ng’okuyingira abawagizi bagenda kugula eccupa ya ssooda emu ya 2,000/= zokka.

Dipu ategeezezza nti okusalira ku bawagizi ensimbi kabadde kakodyo kapya okubaddiza n’okubakulisa okulonda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...