TOP

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa

By Faith Nakanwagi

Added 19th February 2020

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo oluvannyuma lwoludda oluwaabi okubulwa obujjulizi mumusango guno.

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 703x422

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo oluvannyuma lw'oludda oluwaabi okubulwa obujulizi mu musango guno.
 
Bwabadde awa ensala ye  ategeezezza nti omusango guludde nga gwongezebwayo kyokka oludda oluwaabi ne lulemererwa okuleeta omujulizi wadde omu ekintu ky'agambye nti kirinnyirira eddembe ly'omuwawabirwa.
 
Agambye nti ebbanga omusango lyegumaze mu kkooti singa abajulizi bagulinamu obwagazi bandibadde bajja dda mu  kkooti ne balumiriza Bajjo.
 
Wabula Bajjo afulumye mu kkooti nga takiriza oba nga ddala kituufu kkooti egobye omusango gwe.
 
Bajjo abadde awerenemba n'omusango gwokunyiiza omukulembeze we ggwanga bweyasinziira mu Katambi nga agamba nti omwaka 2021 wegulituukira nga Pulesident Museveni avudde muntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...