TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte agambibwa okukuba Imaam w’e Bugiri amasasi

Bakutte agambibwa okukuba Imaam w’e Bugiri amasasi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2020

POLIISI ekutte omusajja agambibwa okukuba Imaam w’e Iwemba, Bugiri Sheikh Masuudi Mutumba amasasi agaamusse n’atwala abasirikale gye yabadde akwese emmundu.

Unity 703x422

John Jagenda, Wakati y'Emmundu egambibwa okuba nga gye baakozesa. Ate ku ddyo, Sheikh Mutumba eyattiddwa.

Byasali Mugoya, avunaanyizibwa ku kulondoola abakuumi mu kitongole ekikuumi ekya Security Group Africa ye yakwatiddwa abasirikale abaabadde bamulondoola okutuusa lwe baamukwatidde ku ssundiro ly’amafuta erya Total ku Kampala Road okuliraana ekizimbe kya Uganda House, ku ssaawa 7:00 mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu.

Nga tebannakwata Mugoya, abasirikale baasoose kukwata John Jagenda ng’ono agambibwa nti ye yaleeta ekirowoozo ky’okufuna owemmundu okutta Sheikh Mutumba.

Kigambibwa nti Jagenda ye yategeeza banne nga bwe yali amanyi omuntu alina emmundu asobola okutuukiriza olukwe lwabwe.

Poliisi egamba nti Jagenda yafunye mmotoka nnamba UAP 435W mwe yatambulizza Mugoya okumuggya e Kampala gy’akolera n’amutwala e Bugiri nti bwe baatuuseeyo baasoose kubeera mu kibira oluvannyuma ne bafuna boodabooda eyavuze Mugoya okumutwala mu maka ga Sheikh Mutumba n’amukuba essasi oluvannyuma n’akomawo e Kampala.

Kino kiddiridde poliisi okusindika abasirikale baayo okuva mu kitongole ekikessi (Crime Intelligence) ne Flying Squad ne bakola omuyiggo n’okulondoola omusajja agambibwa nti ye yaleese emmundu eyasse Sheikh Mutumba bwe yabadde mu maka ge nga February 14, 2020 ku ssaawa 3:00 ez’ekiro.

Kigambibwa nti Jagenda yannyonnyodde abasirikale nti yanonye Mugoya ku mulimu n’amutwala nti n’atuukiriza olukwe lwabwe olw’okutta Sheikh Mutumba era nti bwe yamalirizza yamuvuze n’amukomyawo mu kifo w’akolera.

Abasirikale baalagidde Jagenda okuyita Mugoya ng’amulimbye nti alina omulimu omulala gw’ayagala bagende bakole e Kamuli, nga balina okusisinkana bagende bombi.

Kyategeezeddwa nti Mugoya mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu yavudde ku mulimu n’agenda okusisinkana Jagenda ku ssundiro ly’amafuta erya Total ku Kampala Road okuliraana Uganda House era wano abasirikale we baamukwatidde.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti abasirikale babadde balinnya Mugoya akagere okutuusa lwe baamukutte nti n’ayogera emmundu eyakozesebwa gye yagitwala.

“Omusajja poliisi gw’ebadde enoonya ku by’okutta Sheikh Mutumba Imaam w’e Iwemba Bugiri abasirikale ba Flying Squad baamukwatidde mu Kampala era enteekateeka zikolebwa okumutwala e Bugiri omusango gye yaguddiza, okwongera okunoonyerezebwako”, Onyango bwe yategeezezza.

Yagambye nti abasirikale bwe baakutte Mugoya, yabatutte e Lubaga n’abalaga emmundu SAR nnamba 132836921102912 egambibwa okukozesebwa mu ttemu nga yasangiddwamu amasasi 5.

Emmundu eno yasangiddwa mu kayumba Mugoya w’abadde akuuma ate nga y’abadde avunaanyizibwa okulondoola engeri abakuumi mu kkampuni gy’akolera gye batambuzaamu emirimu.

Okukwatibwa kwa Mugoya kuwezezza abantu 9 nga poliisi yasooka n’ekwata abantu 8 okwali Suleiman Konta, Amos Kajja,, Charles Mwondha, Christopher Mwondha, Ali Mugoya n’abalala nga kigambibwa nti bano baasooka kutuula mu kafubo ne bateesa ku ngeri y’okutta Sheikh Mutumba gwe babadde bagugulana naye olw’ettaka.

Kyategeezeddwa nti Sheikh Mutumba abadde agugulana n’abennyumba ya Sowedi Mugoya era ng’abadde yabawangula mu kkooti e Bugiri ne bajulira mu Kkooti Enkulu e Jinja.

Olwaleero ku Lwokuna nga February 20, 2020 kkooti eno lw’egenda okuwa ensala yaayo mu musango guno.

Ku Mmande omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yategeezezza nti abasse Sheikh Mutumba alabika yabadde abamanyi kuba bwe baagenze mu maka ge, omu ku batemu yamuyise n’afuluma mu nnyumba ye esangibwa ku kyalo Busimba e Bugiri ne bamukuba essasi ku mutwe eryamuttiddewo.

 

 

 

 

 

 

 

POLIISI ekutte omusajja agambibwa
okukuba Imaam w’e Iwemba,
Bugiri Sheikh Masuudi Mutumba
amasasi agaamusse n’atwala abasirikale
gye yabadde akwese emmundu.
Byasali Mugoya, avunaanyizibwa
ku kulondoola abakuumi mu kitongole
ekikuumi ekya Security Group
Africa ye yakwatiddwa abasirikale
abaabadde bamulondoola okutuusa
lwe baamukwatidde ku ssundiro
ly’amafuta erya Total ku Kampala
Road okuliraana ekizimbe kya
Uganda House, ku ssaawa 7:00 mu
kiro ekyakeesezza Olwokusatu.
Nga tebannakwata Mugoya,
abasirikale baasoose kukwata John
Jagenda ng’ono agambibwa nti ye
yaleeta ekirowoozo ky’okufuna
owemmundu okutta Sheikh Mutumba.
Kigambibwa nti Jagenda ye yategeeza
banne nga bwe yali amanyi
omuntu alina emmundu asobola
okutuukiriza olukwe lwabwe.
Poliisi egamba nti Jagenda
yafunye mmotoka nnamba UAP
435W mwe yatambulizza Mugoya
okumuggya e Kampala gy’akolera
n’amutwala e Bugiri nti bwe baatuuseeyo
baasoose kubeera mu kibira
oluvannyuma ne bafuna boodabooda
eyavuze Mugoya okumutwala
mu maka ga Sheikh Mutumba
n’amukuba essasi oluvannyuma
n’akomawo e Kampala.
Kino kiddiridde poliisi okusindika
abasirikale baayo okuva mu kitongole
ekikessi (Crime Intelligence) ne
Flying Squad ne bakola omuyiggo
n’okulondoola omusajja agambibwa
nti ye yaleese emmundu eyasse
Sheikh Mutumba bwe yabadde mu
maka ge nga February 14, 2020 ku
ssaawa 3:00 ez’ekiro.
Kigambibwa nti Jagenda yannyonnyodde
abasirikale nti yanonye
Mugoya ku mulimu n’amutwala
nti n’atuukiriza olukwe lwabwe
olw’okutta Sheikh Mutumba era
nti bwe yamalirizza yamuvuze
n’amukomyawo mu kifo w’akolera.
Abasirikale baalagidde Jagenda
okuyita Mugoya ng’amulimbye nti
alina omulimu omulala gw’ayagala
bagende bakole e Kamuli, nga
balina okusisinkana bagende
bombi. Kyategeezeddwa nti
Mugoya mu kiro ekyakeesezza
Olwokusatu yavudde ku mulimu
n’agenda okusisinkana Jagenda ku
ssundiro ly’amafuta erya Total ku
Kampala Road okuliraana Uganda
House era wano abasirikale we
baamukwatidde.
Omwogezi wa poliisi mu
Kampala n’emiriraano Patrick
Onyango yagambye nti abasirikale
babadde balinnya Mugoya akagere
okutuusa lwe baamukutte nti
n’ayogera emmundu eyakozesebwa
gye yagitwala.
“Omusajja poliisi gw’ebadde
enoonya ku by’okutta Sheikh
Mutumba Imaam w’e Iwemba
Bugiri abasirikale ba Flying Squad
baamukwatidde mu Kampala era
enteekateeka zikolebwa okumutwala
e Bugiri omusango gye yaguddiza,
okwongera okunoonyerezebwako”,
Onyango bwe yategeezezza.
Yagambye nti abasirikale bwe
baakutte Mugoya, yabatutte e
Lubaga n’abalaga emmundu
SAR nnamba 132836921102912
egambibwa okukozesebwa mu
ttemu nga yasangiddwamu amasasi
5. Emmundu eno yasangiddwa
mu kayumba Mugoya w’abadde
akuuma ate nga y’abadde avunaanyizibwa
okulondoola engeri
abakuumi mu kkampuni gy’akolera
gye batambuzaamu emirimu.
Okukwatibwa kwa Mugoya
kuwezezza abantu 9 nga poliisi
yasooka n’ekwata abantu 8 okwali
Suleiman Konta, Amos Kajja,,
Charles Mwondha, Christopher
Mwondha, Ali Mugoya n’abalala
nga kigambibwa nti bano baasooka
kutuula mu kafubo ne bateesa ku
ngeri y’okutta Sheikh Mutumba
gwe babadde bagugulana naye
olw’ettaka. Kyategeezeddwa nti
Sheikh Mutumba abadde agugulana
n’abennyumba ya Sowedi Mugoya
era ng’abadde yabawangula
mu kkooti e Bugiri ne bajulira mu
Kkooti Enkulu e Jinja. Olwaleero
ku Lwokuna nga February 20,
2020 kkooti eno lw’egenda okuwa
ensala yaayo mu musango guno. Ku
Mmande omwogezi wa poliisi mu
ggwanga Fred Enanga yategeezezza
nti abasse Sheikh Mutumba alabika
yabadde abamanyi kuba bwe baagenze
mu maka ge, omu ku batemu
yamuyise n’afuluma mu nnyumba
ye esangibwa ku kyalo Busimba
e Bugiri ne bamukuba essasi ku
mutwe eryamuttiddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....