TOP

Ssemogerere ayingidde mu nkaayana z’aba DP

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2020

EBIKONGE bya DP ebikulembeddwa eyali Pulezidenti, Dr. Paul Kawanga Semogerere ne bannaddiini abakulu mu ggwanga batandise ku nteekateeka y’okutabaganya Pulezidenti Nobert Mao ne bakulembeze banne bwe baatabuse.

Kola 703x422

Dr. Semogerere (ayogera) bwe yasisnkana aba DP gye buvuddeko. Mao (akuba mu ngalo) ne Matia Lwanga Bwanika wakati.

Olukiiko olutuulako abaali abakulembeze ba DP ku ntikko ( Elders council) lutandise okubatuukirira bateese. Beegattiddwaako bannaddiini okuva mu Eklezia Katolika ne bamaseeka abakulu okuva ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde.

Enteeseganya zino zijjidde mu kiseera nga buli ludda luzeetaaga okusobola okugatta ekibiina n’okukizza engulu.

Oludda lwa Mao lwategeezezza nti abakulu ku kakiiko ka Elders Council baatandise ku nteekateeka eno era nabo bakkirizza.

Akola nga ssaabawandiisi mu kibiina, Gerald Siranda yagambye nti DP eyimiriddewo ku kuteesa n’okutabagana era bwe wabeerawo omukisa okubatuuza buli omu akyaniriza na ssanyu.

Samuel Lubega Mukaaku yategeezezza nti DP eri emu era abakulembeze waggulu tewali alina mpalana ku munne. N’agamba nti ekizibu Pulezidenti Mao talina mazima.

Omwogezi w’ekibiina, Kenneth Paul Kakande yasanyukidde enteekateeka zino, n’ategeeza nti ly’ekubo lyokka ery’okugatta abasowaganye. Yagambye nti olutalo mu DP lutono nnyo. “Luva ku kweyagaliza.

Nze nali ngobeddwa naye Elders Council bwe yatuula yasaba Mao obujulizi kwe yasinziira okungoba nga tabulina era ne tutabagana.

Byonna ebigenda mu maaso mu kibiina buntu butono obwetaaga ffenna okukkiriziganya “ Kakande bwe yagambye.

Ku Lwokubiri, Mao yategeezezza bannamawulire nti ye awagira okuteesa era ategese n’olusirika lw’abakulembeze okulaba nga alweyambisa okutabaganya abakaayana.

Olutalo mu DP lwasajjuka wiiki ewedde , abavubuka bwe baalumba Mao ng’atuuzizza olukiiko ku Balintuma e Nakulabye nga bamulemesa okugoba omuteesiteesi w’ekibiina Sulaiman Kidandala Sserwadda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwinehavingamusicalmomentwithsingingpartnernubian 220x290

Coronavirus: Bobi Wine afulumizza...

Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya ku ssennyiga omukambwe lw’azzizza ku lwa coronavirus alert olubadde lwakasaanikira...

Bigere 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Gavumenti enoonya abantu 900 mu bitundu mwe baazudde abalwadde ba corona.

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...