TOP

Ebipya bizuuse ku bavubuka abaalumbye Palamenti

By Kizito Musoke

Added 20th February 2020

ABAVUBUKA Datala Ssenjako ne Charles Mutaasa Kafeero abaakabinja ka ‘Red Top Brigade’ abaalumbye Palamenti baatandika mu 2014 okwenyigira mu bikolwa by’efujjo bo bye bayita eby’okulwanirira omuntu waabulijjo.

Get 703x422

Kafeero ne Ssenjako baakwatiddwa ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okuwanuka mu kibanyi kya Palamenti gye baabadde bagenze okuwuliriza ebiteesebwa ne babuuka ne bagwa wansi mu babaka nga bateesa.

Abavubuka bano be bamu ku baali mu kabinja ka ‘Poor Youth’ abaali bakulirwa Richard Kirekyankuba. Mu kiseera kino ye kkansala w’abavubuka ku lukiiko lwa munisipaali y’e Kawempe.

Abavubuka bano abasibuka e Kawempe bakolera mu bibiina ebiwerako naye nga bonna balina ebigendererwa bye bimu era n’ebikolwa bifaanagana.

Balina obubinja obulala okwali; Jobless-Brotherhood abaatwala obubizzi ku Palamenti mu 2014 nga babusiize langi za kyenvu. Tebaakoma awo ne baddamu okutwala obubizzi ku poliisi ya CPS mu Kampala ne babusuulawo.

Mu January wa 2018 obubiina obw’enjawulo baasalawo bonna okwegatta ne batongoza kye baayita ‘Kawempe Republic’ nga bagamba nti baali beekutudde ku Uganda ng’efuuse ensi eyeetongodde. Hamid Luutu Walakira gwe baatongoza nga ‘pulezidenti’ waabwe.

Abalala abaaweebwa ebifo kuliko; Roy Ssembogga Roy minisita w’ebyobulamu, Bashir Kamugo wa byanjigiriza, Martin Lukanga mwogezi, Vicent Kaggwa ye Gavana wa ‘bbanka enkulu’, Moses Bigirwa sipiika wa Palamenti n’abalala.

Kyokka baasalawo okutondawo amatabi ag’enjawulo agalina okubayamba okutuuka ku biruubirirwa byabwe eby’okwenunula.

Amatabi ge balina kuliko; Alternative Movement abakulirwa Norman Ahimbisibwe, Jobless Brotherhood, Kikankane, Solidarity Uganda ne Red Top Brigade ekikulirwa Mutaasa Kafeero.

Kigambibwa nti omubaka wa Kawempe South, Mubarak Munyagwa ye yatandika enkola y’okutondawo obubiina buno mu 20110 bwe yali anoonya akalulu akaamutuusa ku Bwammeeya bwa Kawempe. Munyagwa teyafunise kubaako ky’atangaaza.

Mu 2018 abavubuka bano baalwanagana ne poliisi e Wandegeya ku bitaala bwe baalemesa poliisi okubakwata nga beekalakaasa. Buli eyakwatibwanga nga beekolamu omulimu nga bamuggya ku poliisi okutuusa lwe baabalemesa.

Abamu ku bavubuka bano baakwatibwa era pulezidenti waabwe Luutu Walakkira kkooti ya LDC n’akulira ‘poliisi’ yaabwe Elia Musoke ne basindikibwa e Luzira ku limanda.

Mutaasa eyakwatiddwa azaalibwa Mulago era gy’abeera era nga y’omu ku bavubuka abali mu kisinde kya ‘People Power’ ekikulirwa omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine).

FDC YATONGOZZA RED TOP BRIGADE

Nga October 9, 2018 ekibiina kya FDC kyatongozza ekibiina ky’abavubuka ekya ‘Red Top Brigade’ ku mukolo ogwali ku kitebe e Najjanankumbi.

Baali bakuza mikolo gy’Ameefuga kwe baatongoleza ekibiina ekirwanirira eddembe n’okwenunula kwa Bannayuganda nga kikulirirwa Charles Kafeero Mutaasa (eyalumbye Palamenti).

Omukolo gwetabwako ebikonge by’ekibiina abakulemberwa pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat, Ibrahim Ssemujju Nganda omwogezi w’ekibiina n’abalala.

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Betty Aol Ocan yasaba bannakibiina okukwatagana n’abavubuka mu lutalo lwe baliko olw'okweddiza obuyinza kuba amaanyi gali mu bo era bantu ba mugaso abatasaanye kulekebwa mabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....