TOP

Mayinja ensi ekulaba - Bobi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2020

Bobi yasabiddwa okwongera okuttaanya ku njawukana eziriwo wakati w'abakulembeze ba People Power ne Ronald Mayinja olw’okuvaayo n’ategeeza nti akoze kyonna ekisoboka okulaba ng’asisinkana Kyagulanyi boogeremu kyokka n'alemwa.

Bobi 703x422

Bobi Wine ne Mayinja

OMUBAKA Robert Kyagulanyi (Kyaddondo East) amanyiddwa nga Bobi Wine ayanukudde omuyimbi Ronald Mayinja nti ensonga ezigenda mu maaso teziri mu masekkati gaabwe ng’abantu wabula Bannayuganda.

Kyagulanyi yabadde Kamwokya ku Lwokuna mu lukuhhaana lwa bannamawulire okwogera ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga.

Bobi yazzeemu nti, “Nze ndi muyimbi era tulina ffamire etugatta ng’abayimbi. Tusisinkana ne twogera ku nsonga ezitali zimu naye muganda wange Mayinja njagala okumutegeeza ekintu kimu nti ensonga enkulu si yaakunsisinkana ammatize n’abantu be tuli nabo naye ekikulu kya kutegeeza Bannayuganda be tuyimirirawo ku lwabwe”.

Yayongeddeko nti bo ng’abayimbi bali nga endabirwamu. Ensonga ze bayimbako bwe baziraba nga ziruma bannansi kitegeeza nti bali ddoboozi ery’obukadde n’obukadde bw’abantu abo.

‘POLIISI EKYATUGAANYI EBY’OKWEBUUZA KU BANTU’

Bobi yagambye nti omulundi gwe baasembayo okusisinkana ne poliisi baali ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda nga kabaluhhamya era ne kategeeza nti eky’okwebuuza ku bantu kiri mu mateeka naye balina kukikola nga bamaze kukwatagana ne poliisi.

Yagambye nti nga February 14, 2020 baawandiikira poliisi okugitegeeza ku nteekateeka zaabwe empya ezitandika ku Mmande nga February 24, omwaka guno era poliisi n’ebategeeza nti ebbaluwa yagifunye.

Yayongeddeko nti yeewuunya n'okutuuka eggulo poliisi yabadde tennabaanukula yadde okubawa ensonga ekyabasirisizza.

Yategeezezza People Power teyakomye awo wabula ng’eyita mu akulira bannamateeka b’ekisinde, Medard Lubega Seggona yawandiikidde poliisi ebbaluwa ng’abasaba babawe olunaku babasisinkane naye byonna poliisi ekyabitunuulidde kyamuli.

ASABYE DP OBUTEEKWASA PEOPLE POWER MU NJAWUKANA ZAABWE

Bobi yayanukudde ab’ekibiina kya DP abeekwasa ekisinde kya People Power nti be baleese okutabuka mu kibiina n’agamba nti ekyo kikyamu era bave mu kwekwasa kuba omulamwa gwa People Power kugatta bantu bonna abanyigirizibwa n’abo abayaayaanira enkyukakyuka.

Yagambye nti enjawukana mu bibiina byobufuzi zibaddewo okuva mu myaka gy’e 1960 nga n’abaliwo kati abamu mu People Power baali tebannazaalibwa.

‘URA EMPEEREZA AMABALUWA OKUBANJA OMUSOLO’

Bobi era yategeezezza bannamawulire nti obukwakkulizo obuleetebwa bwonna buli ku mulamwa gwa kumulemesa kwesimbawo ku bukulembeze bwa ggwanga naddala ekiteeso ekyaleetebwa kabineti gye buvuddeko nti buli eyeesimbawo alina okusooka okulaga engeri gy’azze asasula omusolo gwa Gavumenti.

Yagambye nti bino bigenze okujja ng’ekitongole kya URA kyatandika dda okumusindikira amabaluwa nga bamubanja asasule omusolo mu bivvulu by’azze ategeka nti kuba abadde akuhhaanya ssente mpitirivu naye n’agamba nti eggwanga likimanyi bulungi nti amaze emyaka ebiri nga takkirizibwa kuyimba n’abuuza omusolo gwa ddi gwe bamugamba okusasula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu