TOP

Owapoliisi atuuyanye mu gwa Kanyamunyu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2020

OMULAMUZI Steven Mubiru akiguddeko oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyabadde azze okulumiriza Mathew Kanyamunyu okutuuyana nga bamubuuza ebibuuzo.

Mze 703x422

 
Felix Abura, omuserikale ku poliisi ya Jinja Road ye yattulukuse entuuyo nga bwe zikalaera y’abadde omujulizi owa 13 okulumiriza Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangari mu musango ogw’okukuba omugenzi Kenneth Akena amasasi e Lugogo ku bigambibwa nti yakolobola mmotoka yaabwe.
 
Omulimu gwa Abura gwali gwa kugenda awaali ettemu e Lugogo okumpi n’ekibangirizi kya UMA n’ekibanda kya Malik n’akuba maapu y’ekifo.
 
Yazze ne mmaapu ng’eraga awaali ettemu n’ekifo mmotoka ya Kanyamunyu n’eya Akena we zaali kyokka maapu yabaddemu ebirumira.
 
Oluguudo awaali ekiweta, mmaapu tekiraga, awali ekyambuka nga tekiraga, teraga buwanvu bwali wakati w’ekibanda ky’emmotoka ne ku UMA n’ettemu we lyali ate era teyapima bbanga lyali wakati w’emmotoka ya Akena ne Kanyamunyu.
 
Yasoose kugamba nti mmaapu yagikuba kiro nga November 12, 2016 n’addayo nga November 14 yeetegereze bulungi kyokka yabikyusizza n’agamba nti waliwo eyamutegeeza nti alina omukyala eyalaba nga Kanyamunyu akuba essasi gwe yali agenze okunoonya.
 
Omulamuzi yamubuuzizza oba yaddayo okukuba mmaapu eyo oba yanoonya omukyala gwe baali bamugambye kyokka Abura yabuliddwa eky’okuddamu.
 
Bwe yabuuziddwa ensonga eyamulesaayo ebintu ebimu ku mmaapu yagambye nti yabyerabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...