TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rev. Mwesigwa ebintu bimukyukidde: Bamututte mu kkooti

Rev. Mwesigwa ebintu bimukyukidde: Bamututte mu kkooti

By Joseph Makumbi

Added 21st February 2020

REV. Isaac Mwesigwa poliisi bwe yamukwasa aba famire ye, yalowooza nti ebintu biwedde kyokka ebigambo byamukalidde ku matama n’asoberwa bwe bamugambye nti, abadde agenda mu kkooti ku misango gy’okuwa poliisi amawulire ag’obulimba.

Thumbnailrevmwesigwabyjmutebi5 703x422

Rev. Mwesigwa ng'atuusibwa ku kkooti e Nakawa

Eggulo, Mwesigwa yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku kkooti e Nakawa ku ssaawa 8:00 ez’emisana ne bamusomera omusango gw’okulimba poliisi.

Mwesigwa yasaba poliisi oluvannyuma lw’okukola sitatimenti mu kitongole ekirwanyisa abatujju, emukkirize agende afune obujjanjabi kubanga abasajja abaali bamuwambye, baali bamukuba nnyo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga bwe baabadde baakafuna Mwesigwa yagambye nti, yabadde alabika ng’akooye ebitagambika. Oluvannyuma lwa wiiki emu okuva lwe baamuzuula e Soroti, Mwesigwa yeetutte ku poliisi ku Lwokuna bamuddize emmotoka ye era eno, ebintu gye byayonoonekedde.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti, baabuuzizza Mwesigwa oba alina ky’ayagala okugatta mu sitatimenti gye yasooka okukola nga February 12 n’akalambira nti, talina ky’agattako wadde okukyusaamu n’agamba nti, ‘abasajja bampamba ne bansuula e Soroti’.

Ono, teyabadde na kirowoozo kyonna nti, poliisi esobola okuba ne kkamera ezaakwata entambula ye yonna okutuuka w’agamba nti we baamuwaambira era olwamaze okuddamu nti talina kyakusa mu sitatimenti ye, Twine n’agamba baamututte mu kasenge ka kkamera ne bamulaga ebituufu ebyaliwo.

OLWOKUNA YASUZE MU KADUUKULU KA POLIISI
 
Ku Lwokuna, yakedde ku poliisi okuggyayo mmotoka ye ebintu gye byakyukidde ne bamutegeeza nti, yabadde akwatiddwa. Twine yagambye nti, obujulizi bwe balina, bulaga bulungi nti Mwesigwa tewali yamuwamba wabula ye yasigadde akyabawudiisa.
 
“Twamututte ku poliisi e Mukono mu kasenge ka kkamera zaffe ne tumulaga ebyaliwo byonna ku lunaku lwagamba nti yawambibwa n’agwawo ekigwo,” Twine bwe yagambye.
 
Yagasseeko nti, baamulaze kkamera ku kkamera bye zaakwata okuviira ddala ku Northern Bypass kwe yayita nga mu mmotoka alimu yekka, n’ayita e Namugongo nga era kkamera ziraga nti, tewaaliwo wadde bboodabbooda eyali emulondoola.
 
Kkamera y’e Ssonde nayo yalaze ekintu kyekimu nga mmotoka ye Toyota Raum enjeru nnamba UAR 468D alimu yekka, avuga ku sipiidi ensaamusaamu tewali muntu yenna amugoba.
 
Mwesigwa wano wonna yabadde akyali mugumu nga talowoozayo nti, we yakolera katemba we tewaliiwo kkamera ndala yonna kyokka bwe batuuse ku City Executive Hotel ng’onaatera okuyingira e Seeta ebigambo ne bimuggwa.
 
Mu maaso waliwo kkamera emulaga obulungi ennyo ng’ava mu mmotoka n’agireka ng’eyaka amataala n’afuluma wabweru n’akuba essimu oluvannyuma n’azzaamu esimu munda n’aggalawo n’ayimiriza bboodabbooda n’agiragira emutwale e Seeta.
 
Twine yayongeddeko nti, olwamaze okulaba obutambi bwonna ne buggwayo, Mwesigwa yasiriikiridde olwamaze n’agamba nti, ‘bannange musoyiwe musajja wa Katonda nnina amabanja mangi, bbanka zimmanja, abantu ssekinoomu bamanja ne bammanelenda nabo okwo. Okukola kino, nalowooza nti kiyinza okunnyamba okufuna akalembereza ku bammanja.’
 
Kyokka Twine agamba nti, Mwesigwa baali bamuwadde obudde alimbulule eggwanga n’atakikola era kati baamugguddeko omusango gw’okuwa poliisi amawulire ag’obulimba ne bamuggalira mu kaduukulu ka poliisi ku Jinja Road we yasuze oluvannyuma n’atwalibwa mu kkooti e Nakawa.
 
Aba famire ya Mwesigwa baatutegeeza gye buvuddeko nti, yafuna omusujja ne gumulinnya ku bwongo era buli kiro okuva abaali bamuwambye lwe baamuta, yali agugumuka nga bwawoggana nti, ‘temuntwala mundeke nze muntwala wa”. Kyokka bino byonna, poliisi egamba nti, Mwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....