TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd February 2020

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa

Nem1 703x422

Empirivuma epakiddwa aba Prof Bioresearch

EMPIRIVUMA, abantu abamu bagiyita lukindukindu ate abalala kisansa kubanga kwe kuva ensansa eziruka emikeeka n’okunyeenya amatabi. Bonna batuufu, naye omuti guno bwe gukula ebibala bye guteekako bye biyitibwa empirivuma.

Omuti guno guvaako n’enkoma ze batera okukozesa mu kusiba ssehhenge oba okutindira emyala egibomose era olw’obugumu bwagwo kwe kuva erinnya lya Kabaka erya Lukoma.

Ensigo z’empirivuma ze zimu ku nsigo ezikyasinze okukaluba era omuti kwe ziva gumala emyaka egisoba mu 50 nga gusika eminnyo mu ttaka ne gugiyingiza mu nsigo zaagwo. Enkima n’ebisodde birya ensigo zino ne bitalumbibwa ndwadde. Tezirina bulabe ku muntu, era tuzirya naye engeri gye tuzitegekamu si ntuufu. Abamu basooka kuzisiikako ate ekitta ebirungo ebirimu.

Osaanye kuzirya nga mbisi naye zikaluba awo ffe aba Pro Bioresearch tukwanguyirizza ne tukamulamu butto. Era butto akamuddwaamu ayamba ku bino:

1 Okwongera omutima amaanyi n’okugumya ebinywa ne nnabaana. Ky’ova olaba edda abakyala nga bali lubuto nga bazirya ne basobola obutazaalira ku biso.

N’olumu nga bazaalira waka ku kitooke.

2 Egumya amagumba, omuntu n’atambula olugendo oluwanvu naye nga takooye era bw’otunuulira Abasenegal abazirya ennyo baba bagumu ate nga balina amaanyi. Tunuulira ku bazannyi b’omupiira abavaayo.

3 Ezibukula enseke z’abakyala kuba erimu ekirungo kya ‘Nicotinic acid’ ekizibukula enseke z’abakyala amagi ne gasembera omukyala ne kimwanguyira okufuna olubuto.

4 Eyamba ku bakyala mu nsonga obutalumizibwa era bakozesa butto ono.

5 Nnungi ku bantu abalina enkwaso ennafu, naddala ssinga omukozesa ng’omugasse wamu ne butto ava mu biryo by’ensujju.

6 Ziyamba abaana abasoma kuba butto alimu vitamiini B6 ayamba omuntu okulowooza n’okukwata amangu.

7 Butto ayamba okukkakkanya ku alusa.

8 Ayamba ku binyama ebikwata mu nnyindo naddala mu baana ne baba nga baziyira olumu kibaviirako okufa.

9 Akola ku bizimba mu nnabaana kuba etereeza obusimu bw’omubiri n’otofuna bizimba. 10 Abantu abeerabira ennyo naddala abakadde, butto abayamba okusisimula obusimu ne bateerabiralabira.

11 Akola yogati, oddira butto w’empirivuma n’omugatta mu yogati n’okola yogati azzaamu amaanyi ate nga wa butonde.

12 Empirivuma ekuzzaamu amaanyi g’ekisajja n’okuwangaalira mu kisaawe.

13 Eyamba ku bantu abalina obulwadde bw’abazira, ssinga onywa akajiiko kamu ng’ogitadde ku mazzi agabuguma.

14 Abaana abatera okulumbibwa endwadde era ebayamba okuzirwanyisa. Ekibi empirivuma bagitemye naye ky’ekiseera okutandika okugisimba.

Bw’oba onywa oteeka akajiiko kamu mu mazzi agabuguma. Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwinehavingamusicalmomentwithsingingpartnernubian 220x290

Coronavirus: Bobi Wine afulumizza...

Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya ku ssennyiga omukambwe lw’azzizza ku lwa coronavirus alert olubadde lwakasaanikira...

Bigere 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Gavumenti enoonya abantu 900 mu bitundu mwe baazudde abalwadde ba corona.

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...