TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd February 2020

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Top2 703x422

Omuyimbi Pallaso

Eby’okukuba omuyimbi Pallaso e South Africa bikyuse, omu ku baabaddewo bw’ayogedde bye yalabye n’annyonnyola ekituufu ekyamuleetedde okufuna ebisago by’alina kati.

Amawulire ga Pallaso (Pius Mayanja) okumukubira e South Africa gaasattizza abooluganda n’abawagizi be era bangi n’okutuusa kati bakyebuuza ekituufu ekyabaddewo.

Pallaso e South Africa yagenzeyo wiiki ewedde okuyimba ku kivvulu kya valentayini ekyabadde ku Ferndale Recreation Centre e Johannesburg ng’ali wamu ne bakazanyirizi Madrat ne Chiko era ne wiikendi eno alina ebivvulu mu bitundu bya South Africa ebirala.

Amawulire agaasoose okusaasaana mu kiro ekyakeesezza Olwokuna gaalaze nga Pallaso bwe baamuzingirizza mu kitundu ky’e Turffontein ekisangibwa mu kibuga Johannesburg ne bamukuba mizibu nti olw’okukwana omuwala ate ng’omuwala ono yabadde alina muganzi we.

Pallaso eby’omuwala yabiwakanyizza ng’agamba nti yagudde mu bannansi b’e South Afrika abaabadde baswakidde nga bakuba n’okutemaatema buli gwe basanze okwefaananyirizako ebikolwa by’Ekittabaddugavu ebizze bibalukawo mu ggwanga lino (Xenophobia) era nti be baamukubye.

Wabula omu ku baabaddewo atayagadde kumwatuukiriza mannya agamba Pallaso yagudde bwe yabadde adduka bamusaayimutabule (bayite Abacootala) abaabadde beesaze akajegere nga beegugunga olw’omuntu waabwe eyattiddwa. “Olunaku lwakedde bulungi nga bulijjo era ekitundu ky’olunaku ekisinga Pallaso yakimaze wa Hajjati Zaituni e Winchester.

Pallaso yagenze e South Africa ne pulaani y’okukwata vidiyo y’oluyimba lwe era ku ssaawa nga 8:00 ez’emisana yatandise okugikwata. Ekitundu ekisooka yakikwatidde waka wa Hajjati Zaituni wano we yavudde ne Denis Kiwunya eyabadde avuga mmotoka ne beeyongerayo awalala.

Nga buwungeera baavuze bakomewo we baasimbudde kyokka baabadde banaatera okutuuka mmotoka n’esika Kiwunya kwe kugisimba ku mabbali g’oluguudo akole ku ky’amafuta.

Baabadde baakasimba ne balengera ekibinja ky’abantu abaabadde baswakidde nga bakutte emiggo n’ebissi ebirala nga beegugunga olw’omuntu waabwe eyabadde attiddwa era mu kutya okungi Pallaso yalabye banaatera okutuuka ku mmotoka kwe kufubutuka n’adduka nga akaweewo ng’alowooza nti Ekittabaddugavu ekitera okubeera mu South Africa kimusemberedde.

Abaabadde beegugunga bwe baalabye Pallaso ng’awenyuka ne bamuteebereza okubaako ky’amanyi oba okuba omuntu omukyamu ne bakuba mmotoka mwe yabadde, eyabadde erekeddwa ku mabbali g’ekkubo.

Eyeerabiddeko ono agamba nti Pallaso mu kuwenyuka yatalantuse n’agwa kwe kufuna ebinuubule ku mikono n’akakongovule era we yatuukidde we yabadde alaga ng’abunye omusaayi.

Ayongerako nti kubanga ebiwundu tebyabadde bya maanyi, baakoze ku nteekateeka z’okumutwala mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi obusookerwako wabula waliwo munne eyamuwadde amagezi nti asobola okukozesa embeera okukola amawulire era kwe kukola akatambi ke yasoose okubunyisa n’oluvannyuma beeyongedeyo mu ddwaaliro gye beekubidde ebifaananyi nabyo ne basaasaanya ku mikutu mugattabantu.” Eggulo Pallaso ng’ayogera ku mbeera kati gy’alimu ne bw’awulira yasoose kugumya bawagizi nti agenze atereera wadde akyawuliramu obulumi olw’ebisago bye yafunye kyokka yalaze okwennyamira olw’abantu abamu nti mu kifo ky’okunyolerwa awamu naye bafudde ebizibu bye emboozi.

Maama wa Pallaso alaze okutya olw’obulamu bw’abaana be. Ng’ayogera ku byatuuse ku mutabani we yasoose kulaga kutya olw’ebikolobero ebizze bikolebwa ku baana be ekyavaako ne muto waabwe AK47 okufa mu ngeri etetegeerekeka. “Ekisinga obukulu bwe bulamu.

Oba yabadde na muka musajja oba yabadde agenze kugula njaga tusooke tutaase obulamu bw’omuntu n’oluvannyuma buli muntu ayogere by’ayagala,”bwe yagambye. Ate ye mukulu we Jose Chameleone agamba nti Pallaso gw’amanyi era gwe yakula naye tasobola kulwanira muwala.

“Sisuubira nti Pallaso ali ku ddaala erirwanira omukazi. Ne mu Uganda tulina abawala abalungi bangi ate ndabye emirundi mingi nga ntambula ne Pallaso ng’abawala bennyini be bamwekwanira nze ndowooza ayinza okuba yagudde mu bantu abakyamu.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....