TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd February 2020

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Set1 703x422

Pulezidenti Museveni ng’abuuza ku mubaka Nsamba Kumama (mubaka Bbaale) amyuka ssentebe w’akakiiko akakola ku by’enkulaakulana. Abali wakati ye minisita Persis Namuganza, ate ku kkono ye minisita Beti Kamya. Baabadde mu lukuh− haana lw’ebyettaka ku Protea Hotel e Ntebe.

PULEZIDENTI Museveni agambye nti ekinaayamba Bannayuganda okufuna emirimu n’obugagga ly’eggwanga n’abakugu baalyo okuteekateeka ettaka nga lisobola okutumbula obulimi omuva ensimbi, amakolero, obuweereza obw’ekikugu wamu n’okutumbula enkozesa ya tekinologiya.

“Abateekerateekera enkozesa y’ettaka mu kimanye nti ensi yaffe yazihhama emyaka 600 n’erekebwa omulembe gw’enkyukakyuka ezaaleetebwa amakolero n’okuvumbulwa kw’emmundu.

Tulina okuva ku ky’okwesigama ku bulimi bwokka twongereko n’empagi endala ezizaala obugagga n’okuleeta emirimu.

Bino Museveni yabyogeredde ku Protea Hotel e Ntebe ku Lwokuna bwe yabadde aggulawo olukuhhaana omwayanjuliddwa enteekateeka ey’omulembe egenda okuluhhamya n’okuwa amawulire ku nkozesa y’ettaka mu Uganda.

Museveni yategezezza nti Uganda nsi ngagga naddala bw’otunuulira embeera y’obudde era n’alagira essira liteekebwe ne ku kukuuma obutonde bwensi okuli okulabirira obulungi ennyanja ze tulina n’obutayonoona ntobazzi.

Emyaka 10 emabega gavumenti ya Uganda yafuna ensimbi okuva mu bbanka y’ensi yonna okuteekawo enkola y’omulembe y’okukozesamu ettaka n’okutumbula ebyobulambuzi ng’eno yaweebwa ab’ekitongole ekiyitibwa IGN FI okuva e Bufalansa okugiteekateeka.

Christophe Dekeyne nga y’akulira emirimu mu IGN FI yategezezza nga bwe bakoledde Uganda enkola y’enkozesa y’ettaka ennuhhamu egenda okubeera ekyokulabirako mu mawanga ga Afrika amalala okuli pulani y’ettaka ennungi, obukulembeze mu nsonga z’ettaka n’ebirala.

Minisita w’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, Beti Namisango Kamya yategeezezza nti musanyufu nti eggwanga lifunye enkola egenda okuliyamba okugoba emizimu egibonyaabonya Bannayuganda ku ttaka okuli ekibbattaka, ekisengulabantu wamu n’ettaka erimu okubeerako ebyapa ebisukka mu kimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....