TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro wa Uganda asisinkanye Bamusiga nsimbi ne batema empenda ez'okukulaakulanya Nakaseke ne Luwero

Katikkiro wa Uganda asisinkanye Bamusiga nsimbi ne batema empenda ez'okukulaakulanya Nakaseke ne Luwero

By Joseph Mutebi

Added 23rd February 2020

Katikkiro wa Uganda asisinkanye Bamusiga nsimbi ne batema empenda ez'okukulaakulanya Nakaseke ne Luweero

Nsi1 703x422

Katikkiro wa Uganda Hon.Ruhakana Rugunda ng'awanyamu ne Bamusiga nsimbi mu office ye

KATIKKIRO wa Uganda Dr. Rukahana Rugunda asisinkanye ba musiga nsimbi okuva mu ggwanga ly’Amerika ne beeyama okuyambako okulaakulanya  disitulikiti y’e Luweero ne Nakaseke nga bazimba amayumba ag’omulembe n’okutumbula eby’obulimi.

“Nze bwendaba omuddugavu Omumerika ng’alina ssente n'asalawo okujja mu Uganda okugikulaakulanya ng’ateekamu ensimbi okuyamba okutandikirawo bannayuganda emirimu ffe nga gavumenti tumwaniriza era abeera n’e mikisa mingi okufuuka munnansi bw’abeera ayagadde ng’amaze muno ekiseera” Bwatyo Rugunda bweyategeezezza.

Bino Rugunda yabyogeredde mu nsisinkano eyabaddemu ne bamusiga nsimbi bano nga bakulembeddwamu munnayuganda Haji Abbey Walusimbi akulira NRM e bulaaya ng’ali n’omukungu wa “Capital Brand”  mu Amerika ayitibwa Michael Broughton ne Isaac Kigozi owa East African Partners.

Dr. Rugunda okusisinkana bamusiga nsimbi bano ku ofiisi ye mu Kampala basoose kusisinkana omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Museveni n’abaniriza era n’abawa n’e nnyonyi ye gye babadde batambuliramu okumala wiiki bbiri nga balambula ebitundu by’e ggwanga eby’enjawulo nga kuliko ne badokita abakugu okuli Dr. Julius Ebinu okuva mu UC Davis Hospital mu California ne Dr. Charles  omusomesa mu California.

Rugunda yagumiza bamusiga nsimbi nti baabadde bawulira ku by’okulya enguzi tebatya kubanga egenda kufuuka lufumo oluvannyuma lwa pulezidenti Museveni okugigulako olutalo kisobozese eggwanga okukula ku misinde egya waggulu.

Yayongeddeko nti ekirungi bagenda kutandikira ku by’obulimi okubitumbula nga babigattako omutindo okuli e miyembe ne nannansi ate ng’e Luweero ennanansi gyezitandikira kino kijja kwongera okuwa abavubuka emirimu.

Hajji Walusimbi yagambye nti abakungu bano engeri gye basiimye ebirungi bye balabye ku Uganda kigenda kwongera okusikkiriza bannayuganda abalala okwetanira okuteeka ensimbi zaabwe wano mu Uganda nga bazimba n’amayumba ag’omulembe agali ku ssente entono.

Ye Michael A. Broughton, okuva mu Capital Brand  yagambye nti yasiimye nnyo embeera ennungi gye yalabye mu Uganda era agenda kudda mangu okulaba ng’ateekamu ensimbi eziwera okutumbula eby’obulimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Apass1 220x290

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...