TOP

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd February 2020

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Lat1 703x422

Bobi Wine ng’ayogera eri bannamawulire.

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), poliisi ezzeemu okumugaana okukuba enkuhhaana z’okwebuuza ku bantu ku by’okwesimbawo ku kalulu ka 2021.

Bobi Wine abadde ateeseteese okutandika enkuhhaana ze enkya ku Mmande kyokka, ku Lwomukaaga, omuduumizi w’ebikwekweto bya poliisi, AIGP Asuman Mugenyi yafulumizza ekiwandiiko n’ategeeza nti, enkuhhaana Bobi Wine z’abadde alina, bazigaanye kubanga teyatuukirizza bukwakkulizo bwe baamuwadde.

Yabadde ateeseteese okutandikira ku Pope Paul mu Ndeeba, kyokka Mugenyi yagambye nti, teyatuukirizza bukwakkulizo okuli; okutegeeza poliisi ebifo gy’agenda okukuba enkuhhaana mu budde, omuwendo gw’abantu b’agenda okubeera nabo, obudde bwatandika ne bw’amaliriza.

Kyokka Bobi Wine ye akalambira nti, yawandiikira poliisi ebbaluwa nga February 14, 2020 n’alambika buli kimu nga bwe baali bakimusabye.

Oluvannyuma lw’ebbaluwa ya Mugenyi, Bobi Wine yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Facebook n’agamba nti, yawandiikidde akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga n’akategeeza nti, poliisi yabadde eyimirizza enkuhhana ze. Yagambye nti, yasabye akulira akakiiko kano, Omulamuzi Simon Byabakama, okuyita olukiiko atabaganye enjuyi zombi okuli poliisi n’aba People Power kubanga abaserikale bakakozesa ng’akamu ku bukodyo okulinyirira eddembe lye ery’obuntu.

Yagambye nti, eno y’engeri yokka akakiiko k’ebyokulonda gye kasobola okulagamu nti kajja kusobola okutegeka akalulu ak’amazima n’obwenkanya mu 2021.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, Bobi Wine yasooka n’ayanjula ensonga 10 ze yali yeemulugunyaako mu lukiiko lwe baalina n’akakiiko k’ebyokulonda ne balambika nti, buli lw’aba alina olukuhhaana, balina okugendayo ne poliisi n’erambula ekifo n’abantu abalina okukuhhaanirawo nga bali wamu.

Yagasseeko nti, Bobi Wine yatandise enkuhhaana ze nga tatadde mu nkola ebyo, bye bakkiriziganyizzaako era Pope Paul waabadde alina olukiiko olusooka, poliisi tennalambulawo.

Kyokka ye bwe yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku Lwokuna, Bobi Wine yagambye nti, okuva ku bbaluwa ya February 14, bazzeemu ne bawandiika endala eyawandiikiddwa munnamateeka waabwe, Medard Lubega Sseggona nga basaba okubasisinkana wabula poliisi teyakikoze.

Omwogezi wa People Power, Joel Ssenyonyi yagambye nti, etteeka liragira ennaku ssatu wabula bo baawandiikira poliisi ng’ebula ennaku 10 basobole okweteekateeka kyokka era ebyekwaso bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....