TOP

Aba People Power bongedde okwenyweza

By Martin Ndijjo

Added 23rd February 2020

Aba People Power bongedde okwenyweza

Pip1 703x422

ABA People Power bongedde okwenyweza ng’eggwanga lisemberera akalulu ka 2021 bwe bazimbye ekitebe we banaasinziira okutalaaga eggwanga. Ekizimbe kwe baatadde ekitebe kyabwe, kyazimbiddwa Kamwokya okuliraana Ssemakookiro Plaza we babadde batuuza enkiiko.

Bataddeko ebisenge eby’enjawulo mwe bagenda okuteeka ofiisi n’ekisenge ekinene mwe bagenda okutuuzanga enkiiko nga kituuza abantu 1,000. Ono, y’omu ku kawefube w’akulira ekisinde kino, Robert Kyagulanyi okulaga abantu nti, amaliridde okuvuganya Pulezidenti Museveni mu kalulu.

Ekizimbe bakitaddeko ebifaananyi by’abalwanirizi b’eddembe abazze babeerawo mu nsi yonna. Ekifaananyi kya Bobi Wine kye kisooka ng’afunyizza ekikonde (akabonero ka People Power), Nelson Mandela, Yvone Chaka Chaka, Thomas Sankara n’abalala.

Ssenyonyi yagambye nti, ekitebe kye baazimbye, kyatandise dda okukola kyokka teyawadde muwendo gwa ssente ze kyamazeewo n’agamba nti, waliwo abaaweebwa omulimu guno be balinda okubawa embalirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....