TOP

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd February 2020

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Gab1 703x422

Ssenkaali (wakati) ng’asoma ekiwandiiko kya Gabunga ekyayimirizza emirimu gy’olukiiko lwe olufuzi. Kawolobe (ku kkono) ne Vicenti Mulagwe Sebawutu baabaddewo ng’abajulizi mu lukiiko luno e Lubaga.

OMUTAKA Gabunga Mubiru Zzikwa owa 37, awummuzza basajja be okuli, Dr. Adam Kimala ne munnakatemba Andrew Benon Kibuuka ku lukiiko olufuzi oluddukanya ekika ky’Emmamba Namakaka.

Mu bbaluwa eyabaddeko omukono gwe eyasomeddwa kitaawe era omuwabuzi we ow’oku ntikko, George Ssenkaali mu lukiiko lwa bannamawulire olwatuuziddwa ku ofiisi y’ekika e Lubaga ku Lwokutaano emisana, yayimirizza abakungu b’olukiiko olufuzi okumala emyezi mukaaga okutuusa ng’aweereddwa lipoota ekwata ku ssente z’okutandikawo bbanka ezaasondebwa bazzukulu be n’ez’okumugulira emmotoka ye gy’atafunanga okumala emyaka 4.

Ku kya ssente ezaatabudde Gabunga n’olukiiko lwe, Ssenkaali yategeezezza nti, bazzukulu ba Gabunga beesondamu ssente n’ekigendererwa ky’okutandikawo bbanka y’ekika mu 2016, kyokka n’okutuusa kati Gabunga tafunanga lipoota ezikwatako ekimuwalirizza okuyimiriza olukiiko lwe olufuzi olukulemberwa katikkiro w’ekika Omutaka Mulindwa Luyombo Kagenda n’abamyuka be okuli, Kigoonya Lukolokomba ne Laston Mukalazi Mayombo okumala emyezi 6.

Ono era ataddewo akakiiko ak’ekiseera akakulemberwa abakuza be n’abasumisi okuli, Ssenkaali ne Robert Kawolobe okugira nga bamuyambako okuddukanya emirimu n’okumulabirira okutuusa ng’ebbanga eryaweereddwa akakiiko liweddeko.

Abalala abaayimiriziddwa kuliko, Robert Kiyegga Wagana (omuwanika), Robert Muwanga Kijjambu (looya w’ekika), David Mubiru (omubaka w’emituba), John Baptist Miiro Ssemasazi (omukubiriza w’abaamasiga), Sam Mubiru (oweebyemizannyo n’abavubuka), Joy Mukalazi (omukubiriza w'abakyala) ne Stanely Mukwenda Kijjambu (ssentebe wa kkooti y’ekika).

ABAKUNGU B'OLUKIIKO BAANUKUDDE; Dr. Adam Kimala (omubaka w’olukiiko lw’abayima) ne Benon Kibuuka bwe baatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga eno, baategeezezza nti, byonna ebyasaliddwaawo bikyamu kubanga abaabibadde emabega okuli; Ssenkaali ne Robert Kawolobe Mubiru (omusumisi era jjajja wa Gabunga) tekuli alina buyinza buyimiriza lukiiko lwa kika olufuzi okuggyako katikkiro.

Noolwekyo ebyakoleddwa bitulabikira ng’ebyagendereddwa okunafuya Gabunga n’okulabisa olukiiko lw’ekika ng’olutatambuza mirimu gyalwo ekitali kituufu.

Bukedde we yagendedde mu kyapa ng’olukiiko (olwayimiriziddwa) olwakulembeddwa katikkiro lusisinkanye Gabunga mu maka ge e Kabowa okwogera ku nsonga ezo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....