TOP

Asse mukazi we naye ye yeetuga

By Saul Wokulira

Added 24th February 2020

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 703x422

Abatuuze nga balingiza okulaba omulambo gwa Kantono

Bya Saul Wokulira 

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amulesa omwana wa myezi musanvu naye oluvannyuma ne yetta.

Entiisa eno yagudde ku kyalo Ngeye mu ggombolola y’e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga.

Tonny Oyo, ye yatemyetemye mukazi we, Sarah Kantono n'oluvannyuma ne yeetuga. 

Abafumbo babadde n'omwana omu wa myezi musanvu era baamulese awo nga taliiko ayamba.

Ssentebe wa LCI ow’ekyalo kino, Bernard Oboth yagambye nti, Oyo muganda we ddala era bazaalibwa ku kyalo kino ekya Ngeye ate ye omukazi nzaalwa ya ku kyalo Nabitula mu ggombolola y’e Bugaya mu disitulikiti y’e Buyende. 

Oluvannyuma poliisi y'e Kayunga yaggyeewo emirambo n'egitwala mu ggwanika ly'omu ddwaaliro ly’e Jinja ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. 

 Akulira bambega ba poliisi e Kayunga, Isaac Mugera yagambye nti, ensonga eyatabudde abafumbo tennaba kumanyika wabula ng’okubuuliriza kutandise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo