TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni tayagala kuggya musolo ku masomero ne yunavisate

Museveni tayagala kuggya musolo ku masomero ne yunavisate

By Musasi wa Bukedde

Added 24th February 2020

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza emisolo.

Gugu 703x422

Mugawe (ku kkono) , Pulezidenti Museveni ne Sipiika Kadaga nga balambula yunivaasite ya UCU.

“Lwaki amasomero ne yunivasite biggyibwako omusolo? Sirowooza nti eky’okusolooza omusolo ku matendekero g’ebyenjigiriza kirowoozo kirungi.” Pulezidenti Museveni bwe yagambye.

Yagasseeko nti waakiri ensimbi ze bakozesa okusasula emisolo bazigulemu ebintu ebikozesebwa mu kusomesa amasomo ga ssaayansi.

Okwogera bino, Museveni yabadde ayanukula akulira abayizi ku yunivasite ya Uganda Christian University e Mukono, Timothy Kadaga eyamusabye ayambe mu kussa mu nkola eky’okuggyawo emisolo ku yunivasite.

Museveni yabadde ku UCU ng’omugenyi omukulu mu kutongoza emisinde egyategekeddwa okusonderako ensimbi okuyamba abayizi abawanduka ku yunivasite olw’okulemererwa okusasula ebisale ebyekanamye.

Museveni yawaddeyo obukadde 80 nga ku zino obukadde 30 yabuwaddeyo mu buliwo.

Omumyuka wa Vice Chancelllor wa UCU, David Mugawe yategeezezza nti olw’oluguudo olugenda ku yunivasite obutabeerako mataala, kitadde obulamu bw’abayizi mu matigga nga bangi bababbyeeko ebintu byabwe omuli amasimu, kkompyuta, ensimbi, n’ebirala.

Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga yagambye Museveni nti eky’okuteeka amataala ku kkubo erigenda ku UCU kikulu nnyo kuba erina abayizi 13, 000 ng’ate abasinga ku bano basula mu bisulo ebiri ebweru wa yunivaasite.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...