TOP

Aba LDU bakubye babiri amasasi e Ntebe

By Musasi wa Bukedde

Added 24th February 2020

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala okutwalira amateeka mu ngalo mu lukiiko lw’ekyalo.

Load 703x422

Hussien Mugula aba LDU gwe baakubye amasasi e Kiwuulwe ng’ali mu ddwaaliro e Mulago.

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala okutwalira amateeka mu ngalo mu lukiiko lw’ekyalo.

Bino byabadde Kiwuulwe ku luguudo lw’e Ntebe, abaserikale ba LDU bwe baabadde bagezaako okugumbulula abeekalakaasi ekyaddiridde kukuba abantu babiri amasasi ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bali bubi.

Abaakubiddwa amasasi ye; Marvin Mawanda ne Hussien Mugula ng’amasasi gaabakutte ku mikono.

Mawanda ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Ntebe ate ye Mugula ajjanjabibwa Mulago.

Entabwe yavudde ku batuuze okuva mu mbeera ne baagala okugajambula mutuuze munnaabwe eyategeerekeseeko era Sempijja gwe balumiriza nti alina ebyawongo ebisusse okubattira abantu baabwe.

Bagamba nti abantu mwenda okuli abaana n’abakazi mu bbanga lya mwezi gumu be bafudde ebitategeerekeka bo kye bayita ebyokoola.

Ssentebe David Kasujja olwalabye ng’abantu batabuse yasazeewo okukubira poliisi eyasobodde okutuuka amangu n’abasirikale ba LDU.

Bano baagezaako okutaasa Mulokole Ssempijja eyabadde asongeddwaamu olunwe abaserikale bano ne bakuba amasasi mu bbanga okusobola okugumbulula abeekalakaasi abaabadde beesomye okukola obulabe ku Ssempijja kyokka mu kavuvuhhano kano abantu babiri masasi ne gabakwata.

Amyuka RDC w’e Ntebe Hajji Noor Njuki Mbabali yavumiridde ekikolwa ky’abatuuze ekyokumala gateebereza bantu ne batandika okwegugunga n’okwagala okukola obulabe ku muntu gwe batalinaako bujulizi ku byokoola.

Yabasabye okukuuma emirembe n’ategeeza nti baakugenda mu maaso n’okukola okunoonyereza bazuule ekivaako abantu okufa mu kitundu kyabwe.

Akulira aba LDU e Ntebe, Maj. George Kazaala yasabye abatuuze okukkakkana beewale ebikolwa by’okutwalira amateeka mu ngalo. 

 

 

 

 

 

 

ABASIRIKALE ba LDU
bazzeemu okukuba abantu
babiri amasasi ng’entabwe
evudde ku bbiina ly’abantu
abaabadde baagala okutwalira
amateeka mu ngalo mu
lukiiko lw’ekyalo.
Bino byabadde Kiwuulwe
ku luguudo lw’e Ntebe, abaserikale
ba LDU bwe baabadde
bagezaako okugumbulula
abeekalakaasi ekyaddiridde
kukuba abantu babiri amasasi
ne batwalibwa mu ddwaaliro
nga bali bubi.
Abaakubiddwa amasasi ye;
Marvin Mawanda ne Hussien
Mugula ng’amasasi gaabakutte
ku mikono.
Mawanda ajjanjabibwa mu
ddwaaliro lya Ntebe ate ye
Mugula ajjanjabibwa Mulago.
Entabwe yavudde ku
batuuze okuva mu mbeera
ne baagala okugajambula
mutuuze munnaabwe eyategeerekeseeko
era Sempijja
gwe balumiriza nti alina ebyawongo
ebisusse okubattira
abantu baabwe. Bagamba nti
abantu mwenda okuli abaana
n’abakazi mu bbanga lya
mwezi gumu be bafudde ebitategeerekeka
bo kye bayita
ebyokoola.
Ssentebe David Kasujja
olwalabye ng’abantu batabuse
yasazeewo okukubira poliisi
eyasobodde okutuuka amangu
n’abasirikale ba LDU.
Bano baagezaako okutaasa
Mulokole Ssempijja eyabadde
asongeddwaamu
olunwe abaserikale bano ne
bakuba amasasi mu bbanga
okusobola okugumbulula
abeekalakaasi abaabadde
beesomye okukola obulabe
ku Ssempijja kyokka mu
kavuvuhhano kano abantu
babiri masasi ne gabakwata.
Amyuka RDC w’e Ntebe
Hajji Noor Njuki Mbabali
yavumiridde ekikolwa
ky’abatuuze ekyokumala gateebereza
bantu ne batandika
okwegugunga n’okwagala
okukola obulabe ku muntu
gwe batalinaako bujulizi ku
byokoola.
Yabasabye okukuuma
emirembe n’ategeeza nti
baakugenda mu maaso
n’okukola okunoonyereza bazuule
ekivaako abantu okufa
mu kitundu kyabwe.
Akulira aba LDU e Ntebe,
Maj. George Kazaala yasabye
abatuuze okukkakkana beewale
ebikolwa by’okutwalira
amateeka mu ngalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...