TOP

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt.

By Musasi wa Bukedde

Added 24th February 2020

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa ng’eragira KCCA okweddiza ekitundu ekitannazimbibwamu kiweebwe ekiwayi ky’abasuubuzi abakaayana nti, tebaafuna maduuka.

Malawo 703x422

“Gavumenti ky’erina okumannya nti yiika 3 n’ekitundu okuli akatale, twagulawo mu mateeka. KCCA terina ky’etubanja noolwekyo tesobola (KCCA) kweddiza ttaka lyaffe, tulinawo amaduuka 642 omutali bantu. Bannaffe abo twabayita dda bajje bagasasule kyokka tewali yali azze”, omwogezi w’akatale kano Simon Peter Lubwama bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti wiiki ewedde minisita wa Kampala Betty Amongi yabayise ng’ebiwayi by’abasuubuzi ab’ewa Kisekka okwogera ku kyasalibwawo kabineeti, KCCA okweddizzaako ekitundu. Yagambye nti, baamunnyonnyodde nti, ekyo tekijja kukola kubanga ettaka baalisasula dda mu KCCA noolwekyo teyinza kulyeddiza.

Bino Lubwama yabadde abinnyonnyola abasuubuzi abali mu kiwayi kya Kasolo mu lukiiko olwatudde mu kibangirizi ky’akatale kano KCCA ky’eyagala okweddiza.

“Wakati mu bigambo ebisongovu obwedda abasuubuzi bye baayogeredde gavumenti, eyabaguza ettaka lino ate n’emala n’ebeekyusiza bakkanayizza nti, gavumenti bw’enaaba ekkirizza bagenda kugiguzaako akatundu ku ttaka akagendako amaduuka 642, wokka era ssente zino bagenda kuziteeka ku akawunta ya ROKO ebazimbira”, bwe batyo abasuubuzi bwe baasazeewo.

Baagambye nti ekirungi ng’amaduuka gawedde buli musuubuzi aguze edduuka lye agenda kubeera n’akyapa kye nga kiri mu mannya ge, olwo singa kino kigaana gavumenti n’eremerako nti eyagala ekibangirizi kyonna ekisigaddewo bagenda kumalira mu kkooti kubanga nayo ekimaanyi nti ky’ekola kimenya mateeka.

Kasolo yagambye bannannyini maduuka 179, abaamala edda okuyingira okutandika okuwa ssente z’amassannyalaze kubanga bakyakozesa ga ROKO okutuusa ng’emaze okuzimba gattako ssente za kasasiro.

Ebizimbe byombi okuli Block A, eyaggwa eriko amaduuka 179, ne Block B, egenda mu maaso n’okumalirizibwa byonna bikola amaduuka 512, Era kino kitegeeza nti ekyabula amaduuka 1,300, bammemba okuggwaayo n’olw’ensonga eno tetuyinza kuwaayo ttaka lyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...