TOP

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze

By Henry Nsubuga

Added 24th February 2020

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa Ssande. Abazigu abatannamanyika bwe bawambye muwala w’omu ku bakkansala ku disitulikiti ne bamubuzaawo oluvannyuma ne bamusobyako ne bamala ne bamutta.

Wanga 703x422

Ekifo we baasudde omulambo gwa Nakabira kiri kumpi n’ewaabwe.

Diana Nakabira 18, muwala wa kkansala Sylvia Kyowa Kyobe omutuuze w’e Kisowera ye yawambiddwa abantu abatannategeerekeka okuva awaka ku Lwomukaaga olweggulo ne bamutwala mu kifo ekitaategeerekese nga kiteeberezebwa nti, eno gye baamusoberezzaako oluvannyuma ne bamala ne bamutta.

Kkansala Kyobe yagambye nti, Nakabira muwala wa Saulo Bbumba, abadde ateekateeka kuddayo kusoma S.5 kuba yakola S.4 omwaka oguwedde ku ssomero lya Kisowera S.S era ebigezo byakomawo ng’ayise.

Kyowa agamba nti yayawukanye ne Nakabira ssaawa ng’emu n’amuwa ssente agende ku dduuka agule ebintu omuli amata n’omugaati era n’amulagira okugenda afumbe caayi awaka.

Eby’embi, Kyobe agamba nti bwe yakomyewo awaka ku ssaawa nga 3:00 n’asanga ng’awaka tewali muntu era yakanze kuyita na kukuba hhombe nga teri kanyego.

“Navudde mu mmotoka ne hhenda emmanju bwe natuuseeyo ng’oluggi baluzizzaawo buzza. Natidde era ne nnyingira mpola mu nnyumba kyokka bwe nakebedde buli wamu nga teri muntu. Nakubidde abooluganda ne mbeebuuzaako oba gye yabadde adduse okumpi awo naye nga teri yabadde yaamuylabyeko,” bwe yannyonnyodde.

Yategeezezza Bukedde nti nga yeegattiddwaako abooluganda n’emiriraano ne basambye ensiko ekiro ne banoonya buli wamu era okwebaka nga ziweze essaawa nga 8:00 ogw’ekiro naye nga tebafunye kabonero kumuzuula.

Kenneth Katumba mwannyina wa kkansala Kyobe yagambye nti bwe bukedde ku makya ne batandikira we baakomye wabula nga batambuddeko ebigere bibale ng’okumpi n’ekifo we basuula ebisasiro we baamusudde.

Kigambibwa nti omulambo gwa Nakabira gwasangiddwa nga teguli mu kawale ka munda ekiteeberezebwa nti abaamuwambye baasoose kumusobyako.

Wabula waliwo abamu ku bantu abaategeezezza nti, Nakabira aliko omusajja gwe yalabiddwaako naye e Kisowera ku Lwomukaaga akawungeezi wadde ng’ate teri yabawadde budde kubatunuulira kumanya kiki kye baabaddeko.

Ku biteeberezebwa nti abazigu bayinza okuba nga baaluubiridde ye ng’omuntu, kkansala Kyobe yagambye nti wadde buli kimu kiyinza okuba ekituufu, tamanyi ddala bigendedererwa by’abatemu bano.

Yagambye nti essuubi alirina mu poliisi okukola okunoonyereza ezuule ekituufu ku muntu ki avunaanyizibwa ku ttemu lino.

SSENTEBE W’EKYALO AYOGEDDE

Ssentebe w’ekyalo Kisowera, Abbey Bagenda Bitwalo yalaze okunyolwa olw’okulaba ng’ekikangabwa nga kino kigwa mu kifo ng’e Kisowera ekiri okumpi n’enkambi y’amagye nga bano tebayambye kuwa batuuze babalinaanye bukuumi.

Tulina ab’ebyokwerinda okuli n’aba LDU be twawandiika abangi nga tulowooza nti embeera ng’eno tegenda kuddamu kulabikako naye ng’ate azzeemu okuwulirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.