TOP

Trump alambudde Buyindi omulundi gwe ogusoose

By Musasi wa Bukedde

Added 25th February 2020

PULZIDENTI wa Amerika Donald Trump 73, atuuse mu Buyindi ku bugenyi obutongole wakati mu byokwerinda ebitabangawo mu ggwanga eryo.

Trump 703x422

Pulezidenti Trump ne mukyala we Melania ku bugenyi e Buyindi.

Buno bwe bugenyi bwa Trump obusoose mu Buyindi bukya afuuka pulezidenti wa Amerika wabula bujjidde mu kiseera eky’obunkenke obw’amaanyi olw’ekirwadde kya ssenyiga ayitibwa Corona Virus wamu n’olutalo lw’ebyenfuna mu mawanga ag’omu Asia .

Trump ng’ali mu nnyonyi ye eby’ebyewuunyo eya Airforce One, yatuuse mu Buyindi ku Mmande ng’amema ne mukyala we Melania Trump.

Yayaniriziddwa Katikkiro wa Buyindi, Narendra Modi wakati mu ssanyu n’enkuyanja y’abantu abaamulindiridde ku nguudo eziva ku kisaawe ky’ennyonyi Palam Air Force Base mu kibuga New Delhi.

Obugenyi buno obw’ennaku ebbiri zokka, Trump bwamunyumidde abantu bwe baamwanirizza n’essanyu ku mabbali g’amakubo n’oluvannyuma n’ayogerera mu lukuhhaana lwa nnamungi w’omuntu ateeberezebwa okuba mu 10,000 mu kibangirizi eky’ebyafaayo ekya Taj Mahal.

Obugenyi buno we bwajjidde nga Amerika ne Buyindi gongedde okunyweza enkolagana yaago mu by’obusuubuzi.

Trump bwe yabadde asimbula mu Amerika, yayogedde ku bugenyi bw’agendako nti abusuubira okubeera obwamaanyi era obukyasinze mu Buyindi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....