TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa yunivasite eyabula basanze mulambo mu ggwanika

Owa yunivasite eyabula basanze mulambo mu ggwanika

By Musasi wa Bukedde

Added 25th February 2020

OMUYIZI wa yunivaasite eyabula ennaku munaana eziyise, bazudde mulambo oluvannyuma lw’abazadde be okumala ennaku musanvu nga bamunoonya. Abazadde ne bayizi banne baaguddewo ekigwo nga balabye omulambo gwa Idris Kazibwe 24, ggwanika e Mulago.

Mulambo 703x422

Abantu nga bateeka omulambo mu mmotoka. Mu katono ye mugenzi Kazibwe bw’abadde afaanana.

Kazibwe abadde muyizi wa yunivaasite y’e Ndejje ku ttabi ly’e Kampala ng’asoma ddiguli mu “Procurement and Logistics” era abadde mu mwaka gwe ogwokusatu ng’abuzaayo ekiseera kitono okumaliriza ddiguli ye.

Kazibwe yasemba kulabibwako nga February 16, 2020 e Kawempe Lugoba gye yali asula era yali yaakamala okwogeraganya ne kitaawe ng’atumizza boodabooda okumutwalako ewa kitaawe Moses Kazibwe e Kira. Wabula bwe yava e Kawempe, ate e Kira teyatuuka!

 
AMAZE ENNAKU 7 E MULAGO NG’ABAZADDE TEBAMANYI!
 
Moses Kazibwe, taata w’omugenzi yagambye nti baali bawuliziganya bulungi okutuusa obuzibu lwe bwagwa.
 
Yattottodde nt; Twali tuwuliziganyizza ku makya g’olunaku olwo ku mukutu gwa WhatsApp era n’ankakasa nti ali mu kkubo ajja twogere ku nsonga z’emisomo gya muto we. Nakanda kulinda mwana nga simulaba!
 
Oluvannyuma lw’okulindira ebbanga agamba nti yakuba essimu naye nga teyitamu era nti yasooka kulowooza oba omwana akyusizza mu ntegeka ng’afunye “pulogulaamu” endala.
 
Baamaze kuzuula mulambo ne bakitegeera nti omwana waabwe abadde amaze ennaku 7 ng’ajjanjabibwa e Mulago kyokka nga teri amanyi.
 
Yagambye nti baatuuka e Mulago ng’omwana yaakabula kyokka tebaasobola kumulaba oluvannyuma ne batandika okuteebereza nti osanga yawambibwa nga balinze anaakuba essimu ng’asaba ssente.
 
Baakitegedde oluvannyuma nti lwe baanoonya Kazibwe mu ddwaaliro e Mulago, abasawo baali bamukyusizza nga bamuggye awatuukirwa abalwadde abali obubi.
 
KIKI EKYASSE KAZIBWE?
 
Ebbaluwa za poliisi eziri e Mulago ziraga nti yatwalibwa mu ddwaaliro nga February 16, 2020 nga bamuggya ku Life Link e Ntinda we baasooka okumujjanjabirako nga yaakafuna obuzibu.
 
Kigambibwa nti yali tamanyi biri ku nsi era ne gye yasooka okujjanjabirwa tebaategeera mannya ge ate n’abaamutwalayo tebaateekayo mannya gaabwe.
 
Poliisi oluvannyuma yategeeza abasawo nti bye bazudde biraga nti omuvubuka oyo yafuna akabenje ng’ali ku boodabooda n’amenyeka okugulu ate n’afuna n’ebisago ebyamaanyi ku mutwe ebyamuviiriddeko okufa.
 
AB’OLUDDA LWA MAAMA SI BAMATIVU
 
Taata w’omwana yali yayawukana ne nnyina era wabaddewo okusika omuguwa mu bbanga lye bamaze nga bamunoonya ko n’okwesongamu ennwe.
 
Omulambo gwakwasiddwa taata w’omwana eggulo era waasoose kubaawo kusika muguwa ng’abooludda lwa maama bagamba nti tebakkaanya na bbaluwa za basawo nga bateebereza nti omwana yandiba nga yassaddaakiddwa.
 
Taata naye yatabuse ku byabadde byogerwa oludda lwa maama n’asooka agaana okutwala omulambo wabula oluvannyuma nga bakkakkanye, taata n’akwasibwa omulambo ne bagutwala e Ssenene mu Butambala gye bagenda okumuziika.
 
Ate Charles Ssebambulidde, akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga yategeezezza nti poliisi teyasobola kutegeera kabenje we kaagwa kubanga tebaafuna mawulire gonna ku kabenje kano.
 
Yagambye nti kiteeberezebwa nti Kazibwe bwe yaggwa ku kabenje, abantu abatamanyiddwa be baamutwala ku ddwaaliro lya Life Link poliisi gye yamuggya n’emutwala mu ddwaaliro e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...

Mwe 220x290

Abaakava e Dubai babaggye Matugga...

WABADDEWO akasattiro e Matugga abasawo b’ebyobulamu okuva mu Munisipaali y’e Nansana bwe bazinzeeko abantu ababadde...

Abaana 220x290

Engeri Corona gye yakutte aba Watoto...

OMU ku baakulemberamu abaana ba Watoto okugenda e Bungereza ye yasooka okulaga obubonero bwa Corona. Gwe baasoose...

Olupapula 220x290

Luli Bukedde tubadde tumusomera...

ENSWA bw’ekyusa amaaso naawe okyusa envubo. Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bwe buwanise amatanga ono omusomi...