TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuliro oguvudde ku masannyalaze gusaanyizzaawo emmaali y'omusuubuzi mu kibuga

Omuliro oguvudde ku masannyalaze gusaanyizzaawo emmaali y'omusuubuzi mu kibuga

By Joseph Mutebi

Added 25th February 2020

Omuliro oguvudde ku masannyalaze gusaanyizzaawo emmaali y'omusuubuzi mu kibuga

Fit11 703x422

Edduuka ly'omusuubuzi erisanyewo olw'omuliro

OMULIRO ogugambibwa okuva ku masanyalaze gusaanyizzaawo edduuka ly'omusuubuzi w'ebyalaani n'engoye ku kizimbe kya Ham Towers.

Abantu abakeera okusuubuula ku ssaawa 11 nga bukya balabye omukka ogw'amaanyi nga guva mu kizimbe kya Ham ne batandika okkuba amasimu bwetyo Poliisi ezikiriza omuliro ezze mu budde n'etaasa embeera.

Ssentebe w’abasuubuzi ab’egattira mu kibiina kya “KAFO’ ekigatta abasuubuzi abakolera mu akeedi z’omu Kampala zonna naye ng’akolera ku kizimbe kino agambye nti omuliro gwatandikidde mu dduuka lya  Haji Baker,  alina ebyalani ebisukka 15, nga buli kimu kiri mu bukadde nga 5 agambye abakozi baleseeko amasanyalaze engeri gye bannyuse nga bugenze.

 

Racheal Nalumansi, omu ku bafiiriddwa ebintu  ku maduuka agalinanye edduuka lino agamba nti bakedde mukubira nga bamugamba emmaali eweddewo naye tamanyi oba gye basobodde okutaasaako abayaaye tebagitutte .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti kituufu omuliro gwakutte edduuka ly’omusuubuzi gweyategeddeko erya Baker ne gussanyaawo emmali ye,  ya bukadde na bukadde.  Era nga gwavudde ku massanyalaze abakozi be bakigambibwa nti bagaleeseeko nga bannyuka wabula poliisi eky’agenda mu maaso n’okunoonyereza okwongera okuzuula ekituufu lwakuba ekirungi nti basobodde okulwanyisa omuliro guno bwangu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.