TOP

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

By Musasi wa Bukedde

Added 25th February 2020

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Harvest 703x422

Omugenzi Hosni Mubarak

AMAGYE LWE GASSA KU MUBARAK AKAZITO N'ALEKULIRA

Emboozi enyumiziddwa nga bwe yafulumizibwa mu 2011

Akazito amagye ke gatadde ku Mubarak kaddiridde okwogera kwe, okwatutte eddakiika 18 ku lutimbe lwa ttivvi y'eggwanga kwe yabadde asuubirwa okusinziira okulangirira nga bw'alekulidde kyokka n'atakikola; ekyayongedde okusiikuula abeekalakaasi abayingidde olunaku olwa 19 nga bagumbye ku kibangirizi ky’e Tahrir mu kibuga Cairo abaabadde basuubirwa okweyongera oluvannyuma lw'okusaala Juma.

Wadde Mubarak yagambye nti obuyinza obusinga abukwasizza omumyuka we Omar Suleiman, era nti mwetegefu okukola ku biruma bannansi omuli ebbula ly'emirimu, enguzi n'effugabbi, abeekalakaasi tebaamatidde era bakira baggyamu engatto ne bazitunuza mu ntimbe za ttivvi ng'akabonero akalaga nti bamukyaye ekisusse kuba kino kikolwa kivvola mu Bawalabu.

Amerika nayo yeefuulidde Mubarak gw'erudde ng'ekolagana naye era  Pulezidenti Barack Obama amulagidde aweeyo obuyinza amangu ddala. Kyokka Mubarak yategeezezza nti si mwetegefu kuva mu ntebe mu kiseera kino era n'asaba bamugumiikirize amaleko ekisanja kye mu September w'omwaka guno nti asobole n'okutegeka okulonda. Kyokka yagambye nti obuyinza yabulekedde mumyuka we Suleiman Omar.

Omuduumizi w'amagye ga Misiri Maj. Gen. Roweny yeeyambisizza omukisa gwa bannansi abanyiivu n'abasuubiza nti: Mubeere bagumu, ekiseera kitono okuva kati, ebizibu byammwe byonna bigenda kukolwako.

Yasuubizza nti amagye gagenda kukola kw'ebyo ebiruma abantu awatali kubatulugunya era amangu ago bannamagye ne beetabika mu bantu baabulijjo ne bayisiza wamu ebivvulu era ne gabagamba nti ku mbeera eriwo tebeetaaga kulumba maka ga Pulezidenti agali mu mayiro 11 okuva mu kifo bannansi we bakung'aanidde.

Ebigambo bya Maj. Gen. Roweny biddiridde olukiiko amagye ge lwatuuzizza kyokka Mubarak yabadde ayagala okulwetabamu ne balumugobamu. Kino kyakakasizza nga bwe waliwo olukwe olulukibwa amagye gavuunike gavumenti geddize obuyinza.

Kyokka abatunuulizi abamu bagamba nti kisoboka okuba nga Mubarak naye ayagala amagye gamuwambe mu kifo ky'okulekulira n'alekawo omuwaatwa oguyinza okweyambisibwa bannalukalala ab'ekibiina kya Moslem Brotherhood okulya entebe ne batandika okumukijjanya, okuwamba ebintu bye n'okumuggulako emisango n’aggalirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...