TOP

Walukagga atadde akaka mu luyimba lwe olupya

By Musasi wa Bukedde

Added 25th February 2020

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu oluyimba.

Tembeya 703x422

 
 
Oluyimba lwe yatuumye “Akanyomonyomo” lw’ogera ku mbeera eriwo ey’okunyigirizibwa, obutali bwenkanya kwossa n'ejjoogo.
 
Mu luyimba lwe lumu ayogera ku mbeera eyaliwo ng'abakungu okuva mu bbanka enkulu baggalawo bbanka ya Crane Bank.
 
Mu luyimba luno abakungu b’ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo abalabula obuteeyisa ng'abakungubazi abalinda obudde okuziba ku nnyimbe olwo ne batandika okwenyigira mu bikolwa eby’okwegadanga.
 
Era Walukagga agenda mu maaso n’akubiriza abantu okuyigira ku nsobi zaabwe ez'emabega.
 
Justine Bagyenda, Dr Louis Kasekende, n’abakungu abalala be bamu ku be yatadde mu lutambi (vidiyo) y’oluyimba luno.
 
Walukagga azze ayimba ennyimba ezikwata ku mbeera y’omuntu wa bulijo kw'ossa n’embeera y’obufuzi egenda mu maaso mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...