TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya owa People Power

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya owa People Power

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2020

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti za poliisi ebbiri ze yaakafulumya ku kabenje kano.

Time 703x422

Aba People Power nga batwala omulambo gwa Nabukenya e Magombe. Omugenzi Nabukenya bw’abadde afaanana.

Abaabaddewo ng’akabenje kano kagwawo baategeezezza nti ebimu ku bye baalabye poliisi tebyogerako mu lipooti zaayo.

Alex Twinomujuni agamba nti yalabye akabenje kano, yagambye nti,we kaabeereddewo yabadde ayimiridde ku kkubo. Agamba nti yalabye ppikippiki bbiri nga zifubutuka oludda lw’e Nakawa zikkirira ku misinde egya yiriyiri.

Ppikippiki emu, yabaddeko omukazi ate endala ng’eriko omuntu omu.

Emabega waazo, waabaddeyo kabangali ya poliisi eyabadde eziwondera era ppikippiki nga zinaatera okutuuka ku kkubo eryambuka ku munisipaali y’e Nakawa, zaakoonaganye eyabaddeko omuwala n’egwa wansi ate endala n’esigala ng’edduka.

Yayongeddeko nti, omuwala yagudde yeekiise mu luguudo ate munne eyabadde amuvuga, yayimuse awenyera n’adduka ng’ayambuka ku munisipaali y’e Nakawa. Kabangali ya poliisi eyabaddeko abasirikale wano we yatuukidde emipiira gy’oludda lwa ddereeva gyombi ogw’omu maaso n’emabega ne gimulinnya mu lubuto.

“Nazibiridde ne ntunula wansi nga saagala kulaba byenda bya muntu bwe bifubutukayo nagenze okuwulira ng’emmotoka eyimiridde.” Twinomujuni bwe yagambye.

Yagasseeko nti, kabangali ya poliisi UP 4841 yabaddeko abasirikale emabega nga buli ludda luliko n’abalala babiri mu maaso. Bwe yayimiridde, abasirikale baabuuseeko ne bagoba eyabadde avuga ppikippiki UEY 675P kika kya TVs Star (oluvannyuma eyategeerekese nti ye Wasswa) eyabadde adduka ng’awenyera ne bamukwata.

Yagasseeko nti, bwe baamaze okulinnya omuwala oluvannyuma gwe baategedde nti ye Ritah Nabukenya, nti abasirikale baabadde baagaanyi okumutwala mu ddwaaliro okutuusa abakolera mu katale e Nakawa ne bamakanika abakolera ku luguudo luno bwe beecwacwanye ne bawaliriza poliisi okumutwala mu ddwaaliro era abantu ne bamusitula ne bamuteeka ku kabangali.

Baasoose kumutwala mu ddwaaliro lya Iran – Uganda Police e Naggulu oluvannyuma n’atwalibwa e Mulago ng’abasawo abalemeredde.

Omulala eyalabye akabenje ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti, Wasswa gwe baagobye nga balaga nti baabadde bamwetaaga nnyo ate baamutadde tebamututte wadde ku poliisi.

Yagasseeko nti, ppikippiki ya Wasswa, nnamba yaayo yabadde ebikkiddwaako ekipande kya People Power.

“Poliisi yazze wano ne tukola siteetimenti ne tugibuulira ekituufu ekyabaddewo naye twewuunya okufulumya lipooti nga bye twagigambye tebiriimu.

“Ffe tetuli bannabyabufuzi naye ekyabaddewo twakirabye tusaba eveeyo eyogere amazima,” bwe yagambye.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga eggulo yafulumizza siteetimenti eyookubiri gye yaweerezza mu mikutu gy’amawulire n’agamba nti, bakyekenneenya ebyakwatiddwa kkamera zaabwe kyokka n’akalambira nti, ppikippiki bbiri zaatomereganye mu mbiriizi za paatulo ya poliisi era mu kutomeregana, Nabukenya yagudde wansi n’afuna ebisago.

Yagasseeko nti, bonna abaabadde ku bbooda tebaabadde na bikoofiira bya ku mitwe era ddereeva wa kabangali ya poliisi olwalabye akabenje, yasibye mangu, nti abasirikale ne bassa Nabukenya ku paatulo ne bamutwala e Mulago.

Yayongeddeko nti, ekiboozi kya Nabukenya okuba nga yatomeddwa paatulo ya poliisi mu bugenderevu, kyapangiddwa Bobi Wine olw’ebigendererwa eby’ebyobufuzi n’agamba nti, poliisi terina nsobi yonna gye yakoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...