TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya ku bwapulezidenti’

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya ku bwapulezidenti’

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2020

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza ku bantu ku by’okwesimbawo, kamaze ne kategeeza nti tebalina kye bayinza kumukolera kuba teyeewandiisanga kuvuganya ku Bwapulezidenti.

Kubayo 703x422

Byabakama (ku ddyo) ng’ali mu kakiiko k’amateeka. Ku kkono ye Sam Rwakoojo omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda.

Byayogeddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Simon Byabakama bwe yabadde mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’amateeka akakubirizibwa Jacob Oboth (West Budama South) akaatudde eggulo.

Medard Lubega Sseggona (Busiro East) ye yeemulugunyizza ku ngeri akakiiko k’ebyokulonda gye katafuddeeyo nga Bobi Wine bamulemesa okukuba enkuhhaana ez’okwebuuza ku balonzi ate nga be bamuwa olukusa.

Byabakama yamwanukudde nti amateeka agaliwo babeera tebavunaanyizibwa ku muntu ayagala okwesimbawo ku bwapulezidenti. Omuntu gwe bavunaanyizibwako y’oyo abeera amaze okwewandiisa ng’agenda kuvuganya era gwe bawa amateeka g’alina okugoberera.

Yagambye nti wadde omuntu abeera abategeezezzaako, tebalina buyinza ku ngeri gy’akolamu okwebuuza era kibeera kimukakatako okugoberera amateeka amalala.

Polof. Ephraim Kamuntu yagambye nti baalaba dda omuwaatwa mu tteeka era mu kiseera kino ali mu kwebuuza ku bitongole ebirala ebivunaanyizibwa asobole okuleeta amateeka amapya agaluhhamya enkiiko.

BONGEZZAAYO ENNAKU ABANAAVUGANYA KWE BEEWANDIISIZA

Mu ntegeka eyasooka okufulumizibwa akakiiko k’ebyokulonda, ababaka ba Palamenti baali baakwewandiisa ku nga August 12 ne August 13, 2020 ate kkampeyini zitandike nga August 17 okutuuka nga January 8, 2021.

Abaagala okuvuganya ku Bwapulezidenti babadde baakwewandiisa nga August 20 ne 21, 2020 ate kkampeyni zitandike nga September 1, 2020 okutuuka nga January 8, 2021.

Mu nkyukakyuka ezaayanjuddwa Byabakama ziraga nti abaagala okuvuganya ku bubaka bwa Palamenti baakwewandiisa nga October 7, ne October 8, 2020. Abaagala obwa Pulezidenti baakwewandiisa nga October 1 ne 2, 2020. Oluvannyuma lw’okwewandiisa kampeyini zijja kutandika.

Okulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti kujja kubeerawo wakati wa January 10 ne February 8, 2021 ku lunaku olutuufu olujja okulangiririrwa akakiiko k’ebyokulonda.

BAAKAWEZA EMYAKA 18 TEBAKYALINA MUKISA GULONDA

Byabakama yategeezezza nti abaakaweza emyaka 18 tebakyalina mukisa gulonda. Yagambye nti ekyabagaanye okuddamu okuwandiika abalonzi abaakaweza emyaka 18 kwe kuba nti entegeka z’okulonda zaatandika dda era mu kiseera kino batimba nkalala z’abalonzi.

Ensonga endala kwe kubeera ng’ebiseera ebimu ebyateekebwawo biri mu mateeka ng’okutimba enkalala okulina okumala ennaku 21 awamu n’ennaku endala 10 abantu ze balina okutwaliramu okwemulugunya.

Yayongeddeko nti ku lw’enteekateeka ennungi, akakiiko kajja kutegekera abalonzi abapya abaakoma okwewandiisa nga December 23, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.