TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2020

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Sit51 703x422

Bya Gerrald Kikulwe

MU Pepsi University League

LEERO KU LWOKUSATU 

KIU – UCU

NGA Uganda Christian University(UCU) bannantameggwa ba liigi ya yunivasite omwaka oguwedde baakamegga IUIU mu maka gaabwe e Mukono, leero(Lwakusatu) balumbye Kampala International University(KIU) e Nsambya mu miti.

Bano sizoni gye bakyasembyeyo okusisinkana(2017) tewali yafuna buwanguzi ku munne. Baali mu kibinja kimu nga newankubadde KIU teyava mu kibinja  naye yaggya akabonero e Mukono (1-1) ate e Nsambya (0-0).

Jimmy Kintu atendeka UCU agamba nti omupiira gugenda kuba muzibu nnyo naddala mu kiseera kino nga ttiimu emu yokka y’eva mu kibinja era n’agukwasa Katonda asalewo ebinaaguvaamu.

“Amazima guno omupiira Mukama y’amanyi ebinaaguvaamu,tugenda kunona buwanguzi naye nga nkimanyi tegugenda kuba mwangu,” Kintu bwe yategeezezza.

Jeff Akabwai atendeka KIU agattako ng’awera, “Mbadde musambi wa yunivasite liigi okuva ng’etandikawo mu 2012, ate kati mwe ntendeka,mmanyi buli mutendesi n’obukodyo bwe, ate bwe kituuka ku Kintu oyo ye mutegeera bulungi, guno ng’enda kuguwanguza bumanyirivu bwange mu liigi ate n’omukisa gw’awaka.”

Hannington Ampirwe owa UCU ne Briton Asiimwe owa KIU babuusibwa buusibwa okuzannya ogwa leero olw’obuvune.

Ttiimu zombi zeekanya obubonero(3) ku ntikko y’ekibinja B wabula UCU esinzaako enjawulo ya ggoolo emu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana 220x290

Engeri Corona gye yakutte aba Watoto...

OMU ku baakulemberamu abaana ba Watoto okugenda e Bungereza ye yasooka okulaga obubonero bwa Corona. Gwe baasoose...

Olupapula 220x290

Luli Bukedde tubadde tumusomera...

ENSWA bw’ekyusa amaaso naawe okyusa envubo. Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bwe buwanise amatanga ono omusomi...

Pasitor 220x290

Pasita Namutebi naye akyusizza...

EMBEERA ya Corona buli omu emusaza ntotto naye n’abasumba b’abalokole nabo tebatudde.

Covidfinal 220x290

Ono ebya Corona kirabika yabitegedde...

OMUKULU ono oba ebiragiro bya Pulezidenti n’abeebyobulamu ku kwetangira obulwadde bwa ssennyiga omukabwe abitegeera...

Diamond 220x290

Maneja wa Platnumz awonye Corona...

SALLAM SK (ku kkono) nga ye maneja w’omuyimbi Diamond Platnumz (ku ddyo), awonye ekirwadde kya Coronavirus.